Bya Eric Yiga
TAATA w'omuyimbi Lady Grace (Nakyazi Grace) afiiridde mu kabenje mu luguudo oluva e Jinja okudda e Kampala bwe yabadde asala ekkubo eggulo okudda awaka.
John Kakooza yabadde taata w’eyali omuyimbi w’e nnyimba z'omukwano Lady Grace amannya amatuufu ye yali Nakyazi Grace nga naye yafiira mu kabenje ku luguudo lw’e Semuto bwe yali agenda okuyimba.
Omugenzi Kakooza yakooneddwa emmotoka ekika Kya Canter nnamba UBB 865D eyabadde egezaako okuyisa mu bitundu byo mu Kigombya.
Kigambibwa nti eno yamusaze ku mabbali n’emukoona n'oluvannyuma n’edduka kyokka poliisi yagigobye okutuusa lwe bagikutte.
Mathias Mazinga, omu ku badduukiridde omugenzi agamba nti oluvannyuma lwa Kakooza okukoonebwa, poliisi yayanguye okumutwala mu ddwaaliro lya Mukono General Hospital wabula embeera ye bwe yeeyogedde okubeera embi n'adusibwa mu ddwaaliro e Mulago gye yafiiridde.
Mu kiseera kino emmotoka ekuumibwa ku poliisi e Mukono, ate ye omugenzi aziikiddwa leero ku kyalo Kaveera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.