EYALI ssentebe w’akatale ka St. Balikudembe Owino era ayeegwaanyiza ekifo ky’omubaka wa Kamapala Central, Suzan Kushaba akunze Bannakampala okuyiira pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni obululu mu kalulu Ka 2026 kubanga yaali ku mulamwa gw’okununnula omuntu wa wansi.

Suzan Kushaba nga bamwaniriza mu Owino
Kushaba leero awuubyeko olubu lw’ekigere mu katale ka Owino okubalambululira ku nteekateeka z’okukyala kwa pulezidenti mu katale kuno okwabadde okwokubeerawo enkya Olw'okusantu nga June 24th 2025 kyokka ne kutaataganyizibwa.
Abantu bamwanirizza ng'o muzira mu katale era ne bamusaba nti ku nsonga y’okuvuganya ku kifo ky’omubaka ekya Kampala Central tageza naggyako ekigere kubanga bamulimau essuubi yategeera ensonga z’omuntu wa wansi era naye ne yeeyama nti siwakubayiwa wabula n’abasaba nti bamuweere ne pulezidenti Museveni akalulu kubanga gwe muti oguliko ebibala byagenda okubanyeenyeza ng’atuuse mu palamenti.

Suzan Kushaba ng'ali mu basuubuzi ba St Balikuddembe
Kyokka yennyamidde olwa bantu baayise ba maafiya baagambye nti baalinye mu nteekateeka za pulezidenti ez’okukyala mu Owino okutongoza enkola ya Market loan nga balimba mbu talinaamu bawagizi.
Suzan ng'ali wamu n'Abasuubuzi basabye pulezidenti ajje mu butale atongoze enkola eno eya market loan kuba bagyesunze ate naye beetegefu okumuyiira obuwagizi.

Abasuubuzi nga bawaga okulaba ku suzan
Suzan Kushaba agamba nti ng’omukyala omukozi era alumirirwa omuntu wa wansi azze okwesimbawo mu Kampala Central kubanga amanyi bulungi ebiruma omuntu wa wansi n’engeri gyasobola okubikwatamu okubigonjoola.