Abagobaganya abeebibanja balabe ba PDM - Mayanja

MINISITA omubeezi ow’EbyettakaSam Mayanja alabudde abagobaganya abeebibanja nga bwe bali abalabe b’enkola ya Parish Development Model (PDM) eyajja okubbulula bamufunampola.

Minisita Mayanja
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MINISITA omubeezi ow’EbyettakaSam Mayanja alabudde abagobaganya abeebibanja nga bwe bali abalabe b’enkola ya Parish Development Model (PDM) eyajja okubbulula bamufunampola.
Yasinzidde ku Pulogulaamu ‘Mugobansonga’ ebeera ku Bukedde FM Embuutikizi buli lwa Ssande okuva ku ssaawa 1:00- 2:00 ez’akawungeezi. Mayanj agamba nti, Pulezidenti yakiraba ng’abantu be bali mu mbeera mbi n’ayiiya enkola eneebabbulula mu byenfuna era kwe kuleeta enkola ya PDM.
Enkola egenderera okuyamba bamufunampola beekulaakulanye nga baweebwa akakadde kamu buli muntu. Enkola omwaka gw’ebyensimbi ogujja yayongeddwaamu
ssente n’eteekebwamu akawumbi kalamba nga bwe bukadde 1000.
Abantu bangi abaganyuddwa mu nkola eno ne bafuna ssente ze beeyambisa okulima n’okulunda. Kyokka ate kaweefube waabwe waliwo bannannyini ttaka abagezaako okumutaataaganya nga babagoba ku ttaka.“Nziramu okulabula Bannayuganda nti, ettaka eririko abeebibanja terigabwako liizi era bw’oligula kimanye nti, obeera oguze mpewo. Nammwe abafera abantu nga mubagamba okugabana ku yiika ze 10 akuweeko omusanvu nammwe muli babbi era tujja kubakwata,” Mayanja bwe yagambye.
Obukulu bwa PDM, Mayanja agamba nti, bweyongedde okweraga mu kulambula Pulezidenti kw’aliko kuba takyalira bagagga, wabula essira alitadde ku bamufunampola
abeeyiiya era bawa obujulizi nti, ebayambye nnyo.
Mu mbeera ng’abantu balima n’okulunda okufuna ssente, Mayanja yabasabye beefeeko ngabalya bulungi basobole okubeera abalamu obulungi.
Minisita Mayanja yalabudde abantu abagobaganya abeebibanja nti, tebakoma ku kumenya mateeka, naye banyiiza ne Katonda kuba ne Bayibuli mu kitabo kya Zabbuli
ekyogerako nti, “Mufunampola, Katonda y’amunyweza era y’akuuma entambula ze.”
Olwa Pulezidenti okulwanirira ow’ekibanja, y’emu ku nsonga lwaki Katonda akyamukuumidde mu buyinza ebbanga eddene. Obwannannyini bw’ettaka obw’enjawulo, Ssemateeka yali yabunyweza, okuggyako ow’ekibanja ye yali asigadde mu bbanga. Kyokka ebiragiro Pulezidenti by’azze awa bikoze kinene okutangira abaali basengula abeebibanja.
Mayanja agamba nti, abantu basaana okutegeera obukulu bwa Pulezidenti kuba Ssemateeka w’eggwanga amwogerako ng’akulira Gavumenti, akulira ensi, omuduumizi
w’amagye ow’oku ntikko era nga kye kitikkiro ky’ekitiibwa mu ggwanga.
Tekyewuunyisa okuba ng’okunoonyereza okwakoleddwa kulaga ng’alina obuwagizi bw’abantu 73 ku 100 wadde nga tannaba kuvaamu kigambo. Obuyinza obuweebwa Pulezidenti okukuuma abantu n’ebyabwe kw’asinziira okuwa ebiragiro eby’enjawulo era omuntu yenna  bw’abi-jeemera, abeera amenye Ssemateeka w’eggwanga.