ENKOLA ENDALA EZINAAKUYAMBA OKUZAALA

WIIKI ewedde twalabye ebigaana omusajja okuzaala. Leero abasawo batulaga ebiyinza okukolebwa okuziyiza obugumba mu bakyala n’obutazaala mu basajja.

Maama ng’asitudde muwala we mu ssanyu.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

WIIKI ewedde twalabye ebigaana omusajja okuzaala. Leero abasawo batulaga ebiyinza okukolebwa okuziyiza obugumba mu bakyala n’obutazaala mu basajja.
l Okwewala okwegatta n’abasajja abangi. Dr. Castro Kisuule owa Alexandra Medical Centre mu Kampala, annyonnyola nti, omukyala buli lwe yeegatta n’abasajja abangi emikisa gy’okufuna endwadde z’obukaba ezizibikira enseke n’okukosa nnabaana gyeyongera.
l Okwewala ebitamiiza, ssigala n’ebiragalalagala ebirala ebitaataaganya obusimu bw’omubiri, ekikosa amagi g’omukyala n’atuuka okwagala okuzaala naye nga tasobola.
l Okwewala omugejjo: Okulya emmere erimu ebiriisa okukuuma omubiri nga mulamu bulungi ekigusobozesa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwagwo omuli n’okusobozesa omukyala oba omwami okuzaala.
l Okwewala situleesi n’ebirowoozo ebisusse ekivaako okukaluubiriza omubiri okuteekateeka obusimu obusobozesa omubiri okufuna n’okufunyisa olubuto.
l Okulya emmere ey’ebika byonna olw’ebiriisa ebikuuma omubiri nga mulamu bulungi okusobola okuzaala enkwaso ennamu. Eno erina okuba n’ebirungo nga zinc ayamba mu kukola ekirungo kya ‘testoterone’.
Amagi, ennyaanya, spinach, ensujju n’ebiryo byazo, ebibalabyonna n’enva endiirwa birungi eri omusajja.
l Vitamiini C, antioxidants ebiyamba ku bulamu bw’enkwaso n’obungi bwazo.
l Okukola dduyiro okwegobako omugejjo ogukosa enkwaso.
l Kirungi okujjanjaba yinfekisoni ez’ekika kyonna, kubanga zikosa omusajja n’enkwaso ze.
l Weemanyiize okwekebeza mu bakugu okumanya oba ddala oli mulamu bulungi naddala ng’onoonya omwana, okukakasa ng’obuzibu tebuli ku mukyala wo.
OKUJJANJABA OBUGUMBA
Dr. Kisuule agamba nti, omuntu alemereddwa okufuna omwana nga tebannamujjanjaba basooka ne bazuula awava obuzibu buno.
Obuzibu bwe buba ku nkwaso, amagi, enseke, nnabaana oba ekirala, kye basooka okukolako nga bagoberera emitendera ne balaba ekivaamu.
ENKOLA ENDALA Z’OSOBOLA OKWEYAMBISA OKUFUNA
Abafumbo abamu banoonya abaana ne babula ekibuza essanyu mu maka.
Maama ng’asitudde muwala we mu ssanyu.
Naye omwana okubula tekisaanye kubamalamu maanyi kubanga musobola okumufuna mu ngeri endala ezimanyiddwa.
Dr. Edward Sali, okuva ku Sali International Hospital awamu ne Women’s Hospital Internatinal and Fertility Centre e Bukoto, omusawo omukugu eyasooka okukozesa enzijanjaba ya IVF mu Uganda, East ne Central Africa okuyamba abakyala abalemereddwa okufuna embuto okusobola okuzaala, agamba nti:
Ku bakyala 100 abafumbo, 10 be bakozesa enkola ya In vitro Fertilisation (IVF) okufuna abaana. Abakyala 85 ku 100 mu nsi yonna bafuna embuto nga beetabye butereevu n’abaami baabwe, wabula abakyala 15 ku 100 be bakozesa enkola ya IVF okufuna abaana.
Mu nkola eno, tewali kikolwa kya kwegatta kyetaagisa, wabula abakugu bayita mu mitendera okukolera omwana ebbali oluvannyuma n’ateekebwa mu lubuto lw’omukyala agenda okumusitula.
ABAKYALA ABALINA OKUKOZESA IVF
Dr. Sali agamba nti, omukyala w’atuukira ku nkola eno ng’abasawo bagezezzaako byonna ebisoboka okujjanjaba nga kigaanyi.
l Omukyala ng’enseke ze zaazibikira, tayinza kufunalubuto kubanga eggi teribeera na we liyita kutuuka mu nnabaana kusisinkana nkwaso.
l Obuzibu okubeera ku mwami, omuli enkwaso ez’omutindo omubi, enkwaso entono ddala n’obutatambula bulungi. Wano abakugu basobola okukozesa enkola y’okukwata enkwaso y’omusajja ne bagikuba mu ggi ly’omukyala oluvannyuma ne baliteeka mu mukyala.
l Omukyala akuliridde mu myaka (abasussa emyaka 35).
Omukyala gy’akoma okukula n’amagi ge okukendeera n’okubeera n’omutindo omubi wabula enzijanjaba ya IVF eyongeza emikisa gye okufuna olubuto.
l Omukyala atafulumiza ddala ggi mu nnaku ze, kifuuka okufuna olubuto ng’alina okuyambibwa.
l Abakyala abalumizibwa ennyo nga bagenze mu nsonga. Bano babeera n’embeera nga omubiri ogulina okubeera munda mu nnabaana gwakulira bweru ekivaako obulumi mu nsonga zekiyinza okumubeerera ekizibu okufuna olubuto.
l Abakyala abaagala okuzaala mu biseera byabwe eby’omu maaso.
l Omukyala alina kookolo basobola okumuggyamu amagi ne bagagatta n’enkwaso z’omusajja ne bagatereka nga tannatandika bujjanjabi kubanga eddagala ligatta, olwo mu dda n’afuna omwana we.
l Enzijanjaba zonna ezikozesebwa okuyambako omukyala okufuna olubuto bwe zigaana, okukola, oweebwa amagezi okukozesa enkola ya IVF okufuna omwana