OMUSERIKALE wa poliiisi, Omuyindi ne Munnakenya, n‘abantu abalala 14 baasimbiddwa mu kkooti ne baggulwako omusango gw’obutujju olw’ebigambibwa nti
baasala n’okubba waya z’amasannyalaze mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Omulamuzi Andrew Katurubuki owa kkooti ento e Nakawa ye yasomedde abasajja
abo ogw’obutujju okuli; omuserikale wa poliisi No.
67045 Constable Emmanuel Kato ku poliisi y’e Mukono, Joseph Semanda, Josephat
Muhumuza, Ssaalongo Yasin Mutyaba, Arafat Kakerewe, Yusuf Abdul Razak (Yesu),
Pius Habasa, Pius Kyarisiima, Gerald Ampumuza, Fredrick Otieno, Robert Nirere amanyiddwa nga Kanyamunyu, Ayub Badda, Yasin Mutebi, John Muyingo, Juma Mutabazi, Ssezario Tumwekwatse ne Deo James Kawalya.
Oludda oluwaabi olwakulembeddwa Mahatma Odongo lwalumirizza nti aba awaabirwa wakati wa 2022 ne 2025 mu Kampala, Luweero, Nakasongola, Mityana, Kiboga, Mubende n’awalala baasala waya z’amasannyalaze mu bitundu byo ekyataataaganya emirimu mu malwaliro, amakolero, enkambi z’amagye n’ebirala. Omulamuzi Katurubuki yabasindise ku limanda mu kkomera okutuusa nga July 17, 2025 nga bw’alinda oludda oluwaabi okumaliriza okunoonyereza kwabwe.
Kato ne banne baleeteddwa okuva kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku misango
era Jessy Kitenda, munnamateeka wa UEDCL yagambye ti abantu abo bataataaganyizza
nnyo entambuza y’amasannyalaze era ekizibu kino kibadde kisusse okwetooloola
eggwanga ekivuddeko ekitongole okufi irwa