Ebizuuse ku baakwatiddwa mu ggaali nga banyaga

BUKEDDE agenze ku byalo abavubuka abaakoze eggaali ne banyagula abantu mu Kampala gye babeera n’ezuula ebibakwato omuli n’abatuuze okubeekokkola.

Abavubuka nga balaga omuzigo mwe basula ne munnaabwe Umar Lakika ku ky’e Nabweru.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BUKEDDE agenze ku byalo abavubuka abaakoze eggaali ne banyagula abantu mu Kampala gye babeera n’ezuula ebibakwato omuli n’abatuuze okubeekokkola.
Okunoonyereza kuno kuddiridde poliisi okutwala abavubuka 30 okwabadde n’omuwala mu kkooti eya Buganda Road n’eya LDC ne bavunaanibwa egy’obubbi.
Ebizuuliddwa biraga nti, abamu ku bavubuka bano bava mu maka ag’abantu abeesobola ate abamu bava mu ‘ghetto’ ng’eno gye baavudde ne bayingira ekibuga ng’abamu bambadde ne T-shirt eza kyenvu ezifaanana ez’ekibiina kya NRM.
Ku kyalo Kyebando mu munisipaali y’e Nansana gye twazudde ebikwata ku muwala Jenipher Kengonzi,17. Ssentebe Richard Mwanje, yagambye nti, omuwala ono ku kitundu talinaako bazadde kyokka babadde bamulaba ng’atambula n’ebikoosi by’abavubuka abatigomya ebyalo.
Yagambye nti, yagendako mu ofiisi ye n’amuloopera ng’abavubuka bwe baali bamusobezzaako kirindi kyokka bwe yamusindika ku poliisi teyadda kumubuulira byali bifuddeyo. “Nazzeemu kumulaba mu mawulire nga y’omu ku babbye abantu mu Kampala ne mmujjukira ne nneewuunya engeri gye yeenyigira mu mize egy’okubba n’okutulugunya abantu,” Ssentebe Mwanje bwe yagambye.
“Bwe kiba nti, yakwatiddwa n’abasajja abamenyi b’amateeka, nsaba poliisi enoonyereze ezuule n’abalala,” Nnaabakyala w’e Kyebando, Sylivia Mukasa bwe yagambye.
Wabula atwala ebyokwerinda mu Nansana West IB (Yesu Amala), Saidi Mawanda yagambye nti, be baakutte okuva mu kitundu kyabwe tebaabadde na mutawaana ku bantu n’agamba nti, abaabakutte bayinza okuba nga baabeefaananyiriza.
Yagambye nti, kituufu abaakwatiddwa bava mu ‘ghetto’ era nga bawagizi ba NRM naye si bamenyi b’amateeka era n’asaba poliisi enoonyereze abatuufu abaabadde mu katambi.
Akulira ‘ghetto’ e Nansana, Calvin Leviticus Mugisha yennyamidde olw’engeri abavubuka be yakunze okugenda nabo okuwerekera Pulezidenti gye baabakutte ne basimbibwa ne mu kkooti ku misango gy’agamba nti, si be batuufu abaagizzizza.
BAZADDE B’ABAKWATE
BEEKOKKOLA BANNABYABUFUZI
Sowed Kyofatogabye, omutuuze w’e Kisimu-Katooke mu Kawempe nga ye taata wa Jamil Kyambadde, yagambye nti, tewali muntu mulala asudde mwana we mu buzibu okuggyako bannabyabufuzi.
“Nnina obusungu bungi nnyo ku bannabyabufuzi ku bannakigwanyizi abafuna ssente ne bakozesa abaana baffe nga baagala okuyisaawo ebyabwe,” Kyofatogabye bwe yategeezezza.
Atwala ebyokwerinda e Kisimu-Katooke, Ali Kijjambu Mubiru yategeezezza nti, Brian Kisinzi ne Kyambadde nzaalwa za mu kitundu abamanyiddwa obulungi nga ne bazadde baabwe bamanyiddwa.
Mathias Kisinzi, azaala Brian Kisinzi yategeezezza nti, abaana baabwe baasooka kubatwala Wamala, minisita Balaam bwe yali akyaddeyo ne babawa ssente era kwe kubategeeza nti, balina omulimu omulala ku Lwomukaaga nga babasuubizza ssente nnyingi.
“Mutabani wange ali mu S4 ku Fountain College Katooke era kye twagala kiri kimu, abaana baffe babayimbule kuba tebalina musango. Abeenyigidde mu bikolobero gye bali beewaana,” Kizinzi bwe yagambye.
AB’E KANSANGA BOOGEDDE
Akulira abavubuka mu Kiggundu zooni e Kansanga, Ronald Lukyamuzi yagambye nti, abamu ku bavubuka abaakwatiddwa be bamu ku Gavumenti beetaddemu ssente okubateekateeka n’okubakyusa obwongo mu nkola ya ‘Ghetto Structure’ ne yeewuunya abaabakutte nga babayita abamenyi b’amateeka.
Ate Aziiza Nakabuye, amanyi Ronald Tumusiime, omu ku baakwatiddwa, yagambye nti, abadde amumanyi nga muvuzi wa boda so si kubeera mu bikoosi bya bamenyi