ABATUUZE b’e Kawaala Zooni II basattira oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi ekya NEMA okuddamu okubawa ebipapula
ebibalagira okukyamuka mu nnaku 21.
Ebbaluwa NEMA ze yagabidde abatuuze nga June 20, 2025 ziraga nti, beesenza mu lutobazzi lwa Lubigi ne bataataaganya obutonde bw’ensi nga bazimbako amayumba.
Mu bbaluwa zino, abatuuze baaweereddwa obukwakkulizo okuyimiriza buli kye babadde bakolera mu kifo kino, okukyamuka amangu ddala n’okumenyawo buli kye baazimbawo.
Abatuuze baasobeddwa ku kye bazzaako ne batuukirira kaminsona w’ebyettaka Madinah Nsereko eyabasabye okutuuza olukiiko w’ekyalo awulirize ensonga
zaabwe wabula ate teyasobodde kulubeeramu n’abasindikira Ssentebe wa NRM e Lubaga, Mahad Kaweesa.
Mu lukiiko luno, Ssentebew’ekyalo, Wiberforce Sserwaniko yategeezezza ng’ekitundu
NEMA ky’eyagala okwezza bwe kitali mu lutobazzi ng’okwanjaala kw’amazzi kwajjawo oluvannyuma lw’okukolebwa kw’oluguudo lwa Northern Bypass olw’amazzi
okulemererwa okutambula.
Abatuuze baategeezezza nti, ekitundu kyabwe ekiweza yiika 10 tekiri mu lutobazzi kuba kwaliko n’ebiggya ebyasengulwa nga bakola oluguudo lwa Northern Bypass n’omwala gwa Lubigi ogwakyusibwa.
Baagasseeko nti, ebbanga lyonna lye bamaze bazze nga basasula busuulu eri ekitongole
ky’Obwakabaka ekya Buganda Land Board (BLB) ekibakakasa ku bwannannyini ku bibanja nga tebayinza kukkiriza basindiikiriza kuba bannaabwe abaalina ebibanja wansi ku mwala baabaliyirira wamu n’abaali ewaali oluguudo lwa Northern Bypass.
Christine Naamala, omu ku batuuze, yategeezezza ng’ekitundu NEMA ky’eyogerako bwe bakibaddeko emyaka egisoba mu 70 nga tebasobola kukkiriza kubagobaganya
watali bwenkanya. Sulaiman Ssenyonga nga naye akolera mu kitundu, yagambye
nti, Gavumenti yabawa ssente z’okwekulaakulanya ng’ababazzi mu nteekateeka y’Emyoogang’eky’okubagobaganya kya kubafiiriza ssente nnyingi. Abatuuze mu lukiiko baalumirizza Wilson Matsiko okwekobaana n’aba NEMA
okwagala okutwala ebibanja byabwe wabula ono yabyegaanyi. Kaweesa yasabye abatuuze okubeera abagumu n’abategeeza
nga bwe wataliiwo agenda kubagoba ku bibanja byabwe.
Yagasseeko nti, waakuddamu okuyita olukiiko lw’ekyalo ng’ali wamu n’abakulu mu kitongole ki NEMA oluvannyuma lw’okubasisinkana