OMUBAKA wa Pulezidenti e Lubaga, Henry Kitambula ayingidde mu bugulumbo bw’abakulembeze b’omuluka gw’e Kasubi n’abalagira buli omu okumanya w’akoma
n’okuwang’ana ekitiibwa. Ku Ssande, RDC Kitambula yatuuzizza olukiiko olwabadde
olw’ebbugumu ku ssomero lya Kasubi Family Primary n’ekigendererwa eky’okulaba
bw’asobola okumalawo okweyuzaayuza n’okulwanagana mu bakulembeze nga lwetabiddwaamu abakulembeze b’omuluka ku mitendera gyonna wamu n’abakulira poliisi z’ekitundu.
Abakulembeze abaabadde abakaawu beeyogeredde ebisongovu n’okusikang’ana ebitogi mu maaso ga RDC nga baliko bannaabwe be balumiriza okwefuula bannantagambwako.
Bangi ku bano beemulugunyizza ku ssentebe w’omuluka era PISO w’ekitundu, Peter Tamale gwe baabadde bagamba nti asussizza obukambwe eri bakulembeze
banne.
Wabula Tamale mu kwanukula yagambye nti omuntu bw’ayimirira ku mazima bangi bamukyawa era abamu bamulinako ekkonda bamulanga okuba nti bwe bakola ebikyamu abiremerako olwo ne bamulaba ng’abalwanyisa.
Kitambula yagambye nti obuzibu obusinga okutawaanyaabakulembeze mu kitundu okutuuka n’okwagala okutting’ana n’okwesibisa mu makomera, bamu tebamanyi we bakoma era nga tebawa bannaabwe kitiibwa.
Yagambye nti ekyamuwalirizza okukuba olukiiko luno, abadde asusse okufuna entalo ezitatadde n’okwemulugunya mu bakulembeze b’omuluka gw’e Kasubi ate
nga n’abasinga banna NRM.
Yabalagidde nti tewali ssentebe wa kyalo oba omukulembeze yenna k’abeere nga sentebe wa muluka gwonna, ateekwa kuddamu kugenda mu kitundu kya munne okukolamu ekintu kyonna nga tasoose kumusaba lukusa mu butongole era mu
buwandiike.
Ensonga endala eyabaddeko kalumanywera kwe kuba ng’abantu mu kitundu kya Kasubi tebafunanga ssente za PDM, wadde nga zaatuuka ku akawunti yaabwe era nakyo
baakitadde ku ntalo ezifum-bekedde mu bakulembeze.
Ku PDM, yabagumizza nti mu bbanga ttono waakukwatagana ne KCCA, basale amagezi
ssente ziggyibwe ku akawunti ya sacco zigende mu bantu