Balaajanye ku nkaayana z’ettaka e Kiboga

Abatuuze ku kyalo Lwamilindo mu muluka gwe Sinde mu Ggombolola y’e Kyekumbya mu disitulikiti y’e Kiboga balaajanidde aboobuyinza okuyingira mu nsonga z’ekibanja ekikaayanirwa abatuuze ababiri ku kitundu kino.

Abamu ku batuuze abaabadde mu lukiiko.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Abatuuze ku kyalo Lwamilindo mu muluka gwe Sinde mu Ggombolola y’e Kyekumbya mu disitulikiti y’e Kiboga balaajanidde aboobuyinza okuyingira mu nsonga z’ekibanja ekikaayanirwa abatuuze ababiri ku kitundu kino.
Abakaayana ye Moses Makumbi (66) ne Ramathan Ssegujja (60). Baabadde mu lukiikolw’ekyaloku wiiki ewedde olwakubiriziddwa ssentebe waakyo, Godfrey Ssekabira.
Abatuuze bagamba nti Makumbi yayingiridde ekibanja kya Ssegujja kw’amaze emyaka egisoba mu 20 n’atandika okusaawa emmwaanyi ze omuli n’ebitooke. Ekibanja kya
yiika 4.
“Tulina okutya eri enjuyi zombi kubanga buli omu yeewerera munne okumuggya ku kibanja, tusaba  gavumenti etuyambe kubanga tetwagala tulabe ng’ababiri bano
batting’anye ng’ate ensonga zisobola okugonjoolwa aboobuyiinza,” abatuuze abaakulembeddwaamu Soweedi Ssentumbwe bwe baagambye. Baategeezezza nti ssentebe Ssekabira yeekobaana ne Makumbi bagobe Ssegujja mu kibanja bakyeddize
  ra ssentebe n’amugaana n’okuddamu okulinnya mu kibanja kye wadde okukoleramu
mbu basooke bamalirize ensonga ezo, abatuuze kye bagamba nti kikyamu.
Abatuuze banenyezza ssentebe Ssekabira obutafaayo kwongeray nsonga zino mu bamusingako wabula buli lw’ayita olukiiko n’atandika okubajereegerera n’okubayisaamu amaaso mbu tebalina bye bamanyi era ne yeesalirawo nga ye. Okusinziira ku Ssegujja, ekibanja yakisikira kuva ku ssenga we,Fatumah Nasanga okuva mu 2007 era kuliko ebitooke, emmwaanyi, emiti n’ebirime ebirala. Wabula agamba kyamwewuunyisizza ate Makumbi okuleeta abasaawa mu mmwaanyi ze mbu azisaayira g’ate abaddewo ng’akikozesa emyaka egyo gyonna. Agamba nti yagenda mu LC n’aloopa Makumbi okusaalimba n’okwonoona ebirime bye.
Ate Makumbi agamba nti ekibanja ekyo kyali kya kitaawe n’afa nga tamuwadde mugabo era kati kikye ayagala kukikozesa. Ssentebe Ssekabira yalagidde Makumbi ne Ssegujja ekibanja kino kisalwemu bakigabanire wakati, abatuuze kye baagaanyi. Wabula Ssekabira yeegaanyi abatuuze bye baategeezezza nti naye ayagala ku kibanja ekyo.
Ssekabira yategeezezza nti ye ne LC bagenda kuwa ensala yaabwe oluvannyuma lw’ennaku 14.