ESSOMO ly’olulimi Oluganda okunafuyizibwa ku mitendera gy’ebyenjigiriza egy’enjawulo kyetisse omulamwa gw’ebiteeso mu ttabamiruka w’ekibiina ky’olulimi
Oluganda (EKO), eyatudde ku nkomerero ya wiiki e Mmengo. Lipoota ya ssentebe w’ekibiina, Grace Namukasa, yatumye eyali aminsona w’ebyenjigiriza era eyabadde omugenyi omukulu,
Dr. Anthony Mukasa Lusambu amutuusize obubaka eri ekitongole ekivunaanyizibwa ku masomog’emitendera egy’enjawulo NCDC nti bammemba si bamativu n’ekyokuggyawo essomo lya Literature ku ddaala lya O-level. Mu kwanukula, Lusambu yagambye nti waakutuusa obubaka buno era akiteeke mu buwandiike kubanga eky’olulimi okunafuwa
mu masomero kisembereza okulusaanyaawo ate ng’eggwanga eritalina lulimi teribaawo.
Mu kaweefube w’okukuza olulimi Oluganda mu ggwanga n’okukuuma omutindo gwalwo, Nansubuga yagambye ti abayimbi abamu bafulumya ennyimba
nga bazipakidde ebigambo by’Oluganda ebitali bituufu nga n’ebimu
biwemula.
Yeebazizza abantu mu Buganda okumanya obukulu w’ekibiina ne batwala ebitabo mu kibiina okubisunsula. Yazzeemu okujjukiza bammemba mu kibiina okutwala ebiwandiiko okubivvuunula n’abagamba nti ekibiina kino kyaweebwa olukusa oluvvuunula ebiwandiiko mu mateeka era ebiwandiiko bino ne bw’eba kkooti ebissaamu ekitiibwa.
Yagambye nti oluvannyuma lw’abadigize okwemulugunya ku bigambo by’ennyimba ezimu, yagambye nti entegeka z’okuyamba mu kusunsula ebigambo ebituufu ebirina okukozesebwa mu nnyimba zigenda mu maaso.