Ssenyonga bamutaddeko akazito lwa byapa 3 ebya ffamire

ABOOLUGANDA lwa Paasita Ssenyonga basitudde olutalo nga bamulumiriza okweddiza ebyapa bisatu eby’ettaka lya ffamire.Bapangisizza bannamateeka ne bawandiikira Ssenyonga nga balambika ensonga z’ebyapa ebiriko enkalu bye baagala azzeeyo mu ffamire.

Omusumba Ssenyonga annyonnyodde.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABOOLUGANDA lwa Paasita Ssenyonga basitudde olutalo nga bamulumiriza okweddiza ebyapa bisatu eby’ettaka lya ffamire.
Bapangisizza bannamateeka ne bawandiikira Ssenyonga nga balambika ensonga z’ebyapa ebiriko enkalu bye baagala azzeeyo mu ffamire.
Ssaalongo James Kityo Katetemera ku lw’abamu ku booluganda ng’ayita mu bannamateeka ba Kityo, Byamugisha, Lubega, Ochieng and Company Advocates, yawandiikidde Paasita Jackson Ssenyonga owa Christian Life Church e Bwaise mu Kampala ng’ayagala ebyapa bizzibwe mu mikono gya ffamire.
Mu bbaluwa za balooya Bukedde ze yafunyeeko kkopi, Kityo akirambika nti mu 2006 Ssenyonga yagenda ewa jjajjaawe Cate Keeti n’amusaba amuwe ekyapa ky’ettaka lya kitaawe Ssaalongo Jimmy Katetemera.
Agattako nti Ssenyonga teyakoma okwo, wabula yasaba n’ebyapa ebirala bibiri okuli ekyapa ly’ettaka lya kizibwe waabwe Jonathan Kyeyune n’ekyapa ky’ettaka lya ffamire. Ettaka lino liweza yiika munaana (8) era liri ku Block 181 poloti 42 Buddu e Mwota, Lukaya ku lidda e Lusango.
Kito mu biwandiiko bya balooya alumiriza Ssenyonga nti bwe baamwesiga ne bamukwasa ebyapa ebyo, tebamanyi gye yabiteeka era kati emyaka 16 bamwewuubako okuzuula ekituufu ekifa ku byapa ebyo naye nga buteerere.
Kityo yagambye nti nga ffamire, bali mu buzibu bwa maanyi ku ttaka lino kubanga ekimu ku byapa kwe kuli ettaka we babaziika.
Yakirambise nti waabaluseewo n’enkaayana ku ttaka ly’e Mwota oluvannyuma lw’omu ku baliranwa baabwe mu kyalo okuyingira ettaka n’alitwalako ekitundu, kyokka nga tebalina bwe banunula kitundu ekyo nga tebalina kyapa kiraga watuufu we bayisiza.
Kityo yagasseeko nti wakati mu kusoberwa, yeesitudde n’agenda ewa Ssennyonga okumusaba “kkopi” y’ekyapa bagyesigameko okwerura empenda, kyokka Ssenyonga nti n’agaana okumuwa kkopi y’ekyapa.
Yalaze nti balina obweraliikirivu bungi ku mayitire g’ebyapa bisatu ebyakwasibwa Ssenyonga kubanga tebamanyi watuufu we biri ate ne gwe baabikwasa talambulula kituufu kiriwo ku byapa ebyo.
Bannamateeka baawadde Ssenyonga ennaku 14 zokka okuggyayo ebyapa gye yabiteeka era bw’atakikola, ensonga bazitwale mu kkooti battunke.
Wabula abamu ku ba ffamire abali ku ludda lwa Ssenyonga bagamba nti ebyapa ebyo byamuweebwa kukakasa nti ettaka likuumibwa bulungi lireme kutundibwa.
Bagattako nti waliwo aba ffamire abamu abalina ekirowoozo erigabana batundeko eryabwe nti era okukwasa Ssenyonga ebyapa nti waaliwo okwekengera ku baalina ebiruubirirwa ebyo.
Paasita Ssenyonga yategeezezza nti abakola kino bakimanyi nti bakola kikyamu, bamanyi amakubo amatuufu ge balina okuyitamu naye tebagakozesa kyokka bwe baligakozesa bagenda kutuuka ku kukkaanya