Ssentebe wa Uganda Kwekwaffe Business Forum ayanjudde enteekateeka za World Heritage

KASIM Ssali sentebe wa Uganda Kwekwaffe Business Forum, asinzidde Makka gye yagenze okukola Umura n’ategeeza nti buli ekikolebwa olina okukulembeza Katonda.Ssali ng’ali ne Bakali Menya akulira eby’ensimbi mu Uganda Kwekwaffe olwavudde e Canada baayitidde Makka okukola Umura nga beetegekera okujja e Uganda wiiki ejja okulya Idi.

Ssentebe wa Uganda kwekwaffe Ssali Kasim wakati ne banne nga bali e Mekka
By Benjamin Sebaggala
Journalists @New Vision

KASIM Ssali sentebe wa Uganda Kwekwaffe Business Forum, asinzidde Makka gye yagenze okukola Umura n’ategeeza nti buli ekikolebwa olina okukulembeza Katonda.

Ssali ng’ali ne Bakali Menya akulira eby’ensimbi mu Uganda Kwekwaffe olwavudde e Canada baayitidde Makka okukola Umura nga beetegekera okujja e Uganda wiiki ejja okulya Idi.

Ssali Kasim ne Banne nga bali e Mekka

Ssali Kasim ne Banne nga bali e Mekka

Ssali agambye nti olumaliriza okulya Idi nga boolekera e Mbale nga May 5, okutongoza The World Heritage Festival Edmonton 2023.

Zino ze nteekateeka z’okuddamu ebijaguzo eby’enjawulo ebyatataaganyizibwa Corona omwaka oguwedde era Ssali yagambye nti omulundi guno okuddayo e Canada bagenda kutambula ne ttiimu ya Bannayuganda abaneetaba mu Uganda Kwekwaffe Business Forum ku ntandikwa ya July.

Ekyenjawulo ekiri mu ntegeka y’omwaka guno, abagenda kubeerayo omwezi gwa July gwonna beetabe ne ku mikolo gya August egya The World Heritage era abagenda bakoma okwewandiisa nga June 10.

Wabula lwe bagenda e Mbale okutongoza baakusisinkana n’abantu ab’enjawulo wamu n’abakulembeze okumanya enteekateeka yonna mu bujjuvu.