EGGAALI zino zigwa mu mitendera egy’enjawulo; waliwo ezizimbiddwa bannabyabufuzi, ne wabeerawo eggaali ezizimbiddwa bannabyamizannyo okusingira
ddala abakubi b’ebikonde, ate eggaali endala zizimbiddwa mu buyaaye bw'abavubuka. Zino zonna zaawukana mu busagwa na biki bye zikola.
Eggaali ezizimbiddwa ku buyaaye bw'abavubuka zeezo ezeetuuma amannya mw’osanga Kasolo Group eva e Nakulabye, Nansana, Katooke, Matugga n’okweyongerayo mu Wakiso, B13, eno esinga kubbira Katwe, n’e Makindye. Abasinga, emyaka gye gibatawaanya era nga bettanira nnyo okulwanalwana n’okunywa enjaga.
Waliwo be bayita aba ‘Yellow Boot’ bano bambala nnyo engatto eza kyenvu ennene era nga basinga kwettanira nnyo mu bivvulu by’abayimbi. Bakola effujjo omuli okusamba abantu ne babaggyamu amannyo, mu ngeri y’okulaga eryanyi n’okubba amasimu. Bano
eggaali zaabwe ebiseera ebisinga tezibaako bakulembeze ba nkalakkalira, wabula babaako ebitundu mwe babbira.
Eggaali eziva ku bannabyamizannyo (abakubi b’ebikonde, abazannya ensambaggere (taekondo) ziba z’abo abagenda ne batendekebwa obukodyo bw’okulwana kyokka oluvannyuma ne bateeyongerayo na kitone kyabwe, eyo gye bava amaanyi gaabwe ne
bagakozesa okujojobya abantu nga beeyambisa obukodyo bwe baayiga nga batendekebwa. Bano nabo bettanira nnyo ekifo awaba wategekeddwa ebivvulu oba emizannyo okugeza omupiira. Bano bebabeera n’ababaduumira era nga balina ebikoosi eby’enjawulo, be baakazaako erya ‘Komanda’.
Eggaali endala eyitibwa ‘Nakachwa’ era ng’eno mbi nnyo kuba erimu n’abakozesa amajambiya n’envuumuulo, era nga y'erimu abayingirira abantu mu mayumba amatumbi budde ne babanyagulula buli kantu.
Bakozesa amayinja ag’enjawulo okuli peeva n’amayinja amanene ge bateeka ku kadeeya ne bawuuba nga bali abantu nga musanvu, ne baliwumiza ku luggi ne lugwamu
era bagenda okukutuukako munda mu nnyumba kumpi nga buli omu yeefukiddefukidde dda olw’okutya n’amaanyi ko n’obumalirivu bwe baba nabwo. Bano bettanira nnyo ku luguudo lwa Northern Bypass.
Eggaali endala zizimbibwa bannabyabufuzi era nga zino zaatandiikiriza mpola mu kutimba bipande by’abeesimbyewo ne bawera ne batandika n’okugenda mu nkung’aana zaabwe. Bano beeyawulamu ebiwayi bibiri, okuli ekitambula ne bannabyabufuzi
n’abalala abakuuma bassereebu abayimbi.
Ebiseera ebisinga omuyimbi gwe babeera bakuuma, y’atera okufuuka kamanda waabwe, nga bw’olaba abatambula ne Alien Skin, n’abalala. Kino bakikola nga beerimbise mu kunyweza ebyokwerinda, kyokka oluvannyuma ne ava ku mulamwa ne bafuukira abantu ekizibu ne batandika okubanyagulula.
Eggaali endala enkambwe eyitibwa ‘Squad-19’. Eno yava mu bavubuka abaali bamanyiddwa nga ‘Naggulu Boys’ abasangibwa mu Naggulu-Go-down. Ya bulabe
nnyo era ng’esinga kupangisibwa abagagga abaakolamu nga enjogera y’ennaku zino bw’eri. Bambala bulungi ne banekaanekana saako okwekuba obuwoowo obw’ebbeeyi era nga ne mu bifo eby’abaggagga babeerayo. Babapangisa okuyiwa amannyo oba okuwulubaza oyo yenna aba ayagala muk’omusajja nga baliko akafo we bali. Bano olumala ekibatutte nga babulawo, era ng’ebiseera ebisinga babeera n’entambula, emmotoka oba ppiki. Ekigendererwa kyabwe okusinga kiba kya kubaza balina
ssente n’amasimu ag’ebbeeyi basobole okubabba. Eggaali endala esangibwa mu kifo ekimanyiddwa nga Bamuda, ekiri okumpi n’akatale ka St. Balikuddembe abangi ke bamanyi nga Owino. Bano abakulira amanyiddwa nga Shafiq. Eggaali ya bano
y’emu kw’ezo ezettanirwa ennyo bannabyabufuzi ababa beesimbyewo ku bifo eby’enjawulo, so nga waliwo n’abamu mu bagagga, babapangisa ne babatwala ku ttaka oba ku bizimbe ebiba biriko enkaayana basobole okulisuuzabe bagugulana nabo. Waliwo eggaali eri e Katwe, era ng’eno erina n’oluguudo olumu lwe beekwatang’omuntu yenna ow’ekidduka okuyitawo, osooka kubawa siringi lukumi. Bano bakolagana n’eggaali endala esangibwa e Katwe-Kinyoro, era nga batera n’okuteega abantu abakozesa
oluguudo oluva ku Poliisi y’e Kibuye, ne lugwa e Nsambya Keviina.
Eggaali emu, ssente kati bazisolooza ku bavuzi ba bodaboda, sso nga abamu bazze
bakozesebwa abanene ababa beegwanyiza obukulembeze bw’obutale ne paaka za takisi
oba loole mu Kampala. Kino kyalabibwako mu katale ka Usafi, ekibinja kya bakanyama bwe kyezza akatale kano, kyokka oluvannyuma KCCA n’ekabasuuza ng’ekozesa poliisi wakati mu kusika omuguwa okw’amaanyi.
OBUKODYO BWE BAKOZESA:
Abamu ku bo beesiiga woyiro, nga bw’ogezaako okumukwatang’abba, aseerera n’akuddukako, ate abalala bambala engoye ez’enjawulo bw’agenda okubba n’akizuula nti waliwo abamuwondera, aggyamu ze mumulabiddemu, ’asigala mu ndala
nga kino kiba kizibu okumumanya ng’omusanze mu kkubo olw’ensonga nti abamu bakyusa ne mu ntambula nga beefuula abalema.
Abalala bwe bamanya nti babawondera, bassaako kakokola tondeka nnyuma nga bwe bakuba enduulu. Kino kiba kizibu okubaawula ku babbi be baba bagoba n’abatali babbi.
ENGERI GYE BATENDEKEBWAMU:
Abasinga okuba mu ggaali zino, batendekerwa mu bufo obutonotono, mwe beetendekera okukuba ebikonde n’ensambaggere. Baasookera kutendekebwa Nakivubo gye baava ne bagenda e Nansana okumpi ne Yeesu Amala, sso nga abalala kati batendekebwa
mu kifo ekimu ekisangibwa e Naguru - Go - Down. Eggaali abazirimu mu kusooka baatwalibwa nga abamenyi b’amateeka era ng’ebitongole byokwerinda babakwata okutuusa jjo lya balamu, ebibiina by’ebyobufuzi ebigundiivu mu ggwanga lwe byatandika okubeekwata nga babakozesa mu kuwenja obuwagizi mu bavubuka naddala abawangaalira mu bitundu bya ‘Ghetto’ mu Kampala, Wakiso, Jinja, Mukono, n’ebitundu ebirala.
Kigambibwa nti waliwo n’abanene abalina akakwate ku bibiina by’ebyobufuzi, ababakozesa okukola effujjo ku be bavuganya nabo omuli n’okuyuza ebipande byabwe bye baba batimbye mu bifo eby’enjawulo.
Enkya ka tukuleetere miisoni enkambwe ze bakoze, engeri gye baagabanamu Kampala, Wakiso ne Mukono, abazikulira ne bafuna obwakabaka. Engabana ya ssente n’omunyago n'enkalala z'abazze bakwatibwa.