Amawulire

Ssentebe wa NRM alemesezza aba UNRA okukola omukutu

SSENTEBE wa NRM e Masaka, Peter Ssenkungu alemesezza aba UNRA okukola omukutu ogutambuza amazzi ng’agamba nti gwabuluza mu ettaka lye.

Ssentebe wa NRM alemesezza aba UNRA okukola omukutu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

SSENTEBE wa NRM e Masaka, Peter Ssenkungu alemesezza aba UNRA okukola omukutu ogutambuza amazzi ng’agamba nti gwabuluza mu ettaka lye. UNRA yapangisa kkampuni ya CICO okukola enguudo e Masaka okuli olwa; Kitovu Cathedral, Muteesa 1, Bukoba. Kyokka bwe baabadde batandise okusima omukutu n’okukola oluguudo lwa Haji Matovu oluva ku kkooti okutuuka ku Bukoba, we baasangidde okusoomoozebwa, Peter Ssenkungu bwe yabalemesezza ng’ayagala basooke bamuliyirire okusima omwala mu ttaka lye. Mu nsisinkano eyabadde ku ofiisi za mmeeya w’ekibuga Masaka, eyeetabiddwaamu abatwala ekibuga n’abakola enguudo, Yinginiya wa UNRA, Steven Kizza yategeezezza ng’emirimu bwe gyayimiridde olw’abannannyini ttaka okugaana okuwaayo ku bitundu ku ttaka lyabwe. Yanokoddeyo Ssenkungu gwe yagambye nti yalemesezza abakozi ba CICO era ng’abadde yaakeewuuba mu ofiisi zaabwe enfunda eziwera ng’awera nga bwatayinza kukkiriza poloti ye kugyawuzaamu. Ssenkungu yategeezeza nti alina obwannannyini ku poloti eno era nga yagigula ku baali abakozi mu Masaka munisipaali noolwekyo yabadde tayinza kukkiriza emale gatwalibwa. Yategeezezza nti oluguudo olukolebwa lusanzeewo poloti ye n’awa abakulembeze amagezi omukutu gukyusibwe. Bwe baba tebalina waakuguteeka, bamusasule. Yalabudde nti bwe bakozesa eryanyi wakubatwala mu kkooti. Mmeeya Florence Namayanja yagambye nti si beetegefu kufiirwa pulojekiti eno era nga baakweyambisa amakubo gonna agasoboka okulaba ng’enguudo zikolebwa era nga ziggwa.

Tags: