OMUTUUZE w’e Jinja Kawempe B, John Kalyango 55 agudde mu kibinja ky’abamenyi b’amateeka ekyakazibwako Kasolo Group ne bamukuba peeva ku mutwe n’afa ne banyaga ebibye byonna.
Kalyango, 55, yabadde akedde okugenda okukola era baamututteko ebibye omuli ssente n’essimu. Abatuuze baamusanze akyalimu akalamu ne bamuddusa mu ddwaaliro e Mulago wabula n’afa nga yaakatuusibwayo.
Okufa kwa Kalyango abatuuze bakutadde ku bugayaavu bw’abakulira ebyokwerinda ku kyalo kino nga balumiriza poliisi okulemwa okussa amaanyi mu byokwerinda ekivuddeko akabinja k’abavubuka okufuuka ekizibu mu kitundu.
Emily Nankabirwa, omutuuze ku kyalo kino yagambye nti abavubuka ba ‘Kasolo Group’ batadde ekitundu ku bunkenke kuba kumpi buli mwezi wabaawo gwe batta nga bakozesa peeva oba amayinja ga minzaani.
Oweebyokwerinda ku kyalo kino, Ivan Nyombi agamba nti obubbi obususse buvudde ku bazadde abamanyi emize gy’abaana baabwe kyokka ne babasirikira nga kati be bafuuse ekizibu.
Yagasseeko nti ebifo ebisinga abavubuka bano babyetooloola dda kyokka tewali kikolebwa ng’oluusi abakulembeze beevaamu ne bakwata abavubuka bano kyokka poliisi n’ebayimbula. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti abavubuka bano poliisi etandise kaweefube w’okubakwata kyokka asabye abatuuze abamanyi enfo zaabwe okutegeeza ku poliisi