Dr. Ssemugenyi ayagala kkooti eyimirize ennongoosereza mu tteeka ly'amagye eryayisibwa

MUNNANSI akubye Gavumenti mu kkooti n’agattako ne palamenti ng'asaba abalamuzi bayimirize ennongoosereza ezaayisibwa mu tteeka erifuga amagye [UPDF] 2025 okukola okutuusa nga litereezeddwa.

Dr. Ssemugenyi ayagala kkooti eyimirize ennongoosereza mu tteeka ly'amagye eryayisibwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MUNNANSI akubye Gavumenti mu kkooti n’agattako ne palamenti ng'asaba abalamuzi bayimirize ennongoosereza ezaayisibwa mu tteeka erifuga amagye [UPDF] 2025 okukola okutuusa nga litereezeddwa.

Dr. Dennis Daniel Ssemugenyi omusango yagutaddeyo ku Lwokubiri nga June 24 2025 mu kkooti ejulirwamu n’alaga engeri ennongoosereza ezaayisibwa Palamenti bwe zityoboola ssemateeka n’enfuga etambulira ku demokulase.

Yawadde ensonga mukaaga kwe yeesigamye okusaba kkooti eyimiriza etteeka lino okukola okuli; lityoboola eddembe ly’obuntu, nti teriwa mukisa akwatiddwa kuwulirizibwa musango gw'aba akoze mu mbeera y’okuwozesa abantu ba bulijjo mu kkooti z’amagye ezirina ebiragiro ebikakali ebituusa n’okuggalira bannamateeka abawolereza abasibe nga tebasoose kwewozaako.

Yalaze nti lirinnyirira eddembe ly'okweyogerako n’obwenkanya naddala mu nnyambala nga ligaana engoye ezimu okwambalibwa bannansi nga bwe baagala , etteeka ne lifuula engoye zaabwe nti zifaanagana ezambalibwa abaserikale.

Likontana n’obuwaayiro obumu mu ssemateeka naddala obwogera ku ddembe ly’obuntu.

Enkola y’etteeka lino ekontana n’enkola ya kkooti za bulijjo ezikkirizibwa okuvunaanirwamu bannansi kubanga kkooti y’amagye teriiko budde bugere n’emitendera egiyitibwamu okuvunaanirayo abasibe gya njawulo olwokuba erina obuyinza bungi obulabika nti butyoboola eddembe ly’obuntu.

Yalaze nti likontana n’amateeka g’eggwanga agamu ku mateeka g’amawanga amalala agafuga eddembe ly’obuntu ate nga Uganda mmemba mu bibiina ebigigatta n’amawanga amalala.

Dr. Ssemugenyi era alaga nti etteeka lino likontana n’amateeka agafuga obuyinza n’enkola egoberera enfuga yamateeka.

Mu mpaapa ye, yalaze nti kkooti etaputa ssemateeka erina obuyinza obutaganjula obuwaayiro bwonna mu ssemateeka nga buyisiddwa palamenti n'eragira butereezebwe oba buyimirizibwe singa ezuula nti kanyigiriza bannansi oba kayisiddwa mu bukyamu.

Mu biwandiiko byeyataddeyo mu kkooti, yagisabye erangirire nti ennongoosereza ezaakolebwa mu tteeka erifuga UPDF 2025, limenya ssemateeka era lirangirirwe nti ffu.

Yasabye abalamuzi bafulumye ekiragiro ekirigaana eteeka lino eryayisibwa edda okusibwa mu nkola.

Yasabye abalamuzi balagire eteeka liddemu lyekenenyezebwe n’obuwaayiro obuwa abaserikale obuyinza obwenkomeredde bugibwemu.

Dr. Dennis Daniel Ssemugenyi

Dr. Dennis Daniel Ssemugenyi

Yasabye kkooti emuliyirire byataddemu ate abalamuzi bwebataganjula obujjulizi ne basanga nti waliwo ebiragiro ebirala byatasabye ebiyamba eggwanga nabyo babiyise.

Eteeka lino lyagulumbya nnyo palamenti nga liyisibwa era ababaka ku ludda oluvuganya gavumenti beekandagga ne bafuluma palamenti nga bagamba nti waliwo obuwaayiro obusiddwaamu nga bukontana n’eddembe ly’obuntu.

Baawa ensonga nti kkooti ensukkulumu yali yaggyawo dda akawaayiro akawa kkooti y’amagye obuyinza okuvunaana abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye nti okuzaamu akawaayiro ako kiba kityobodde ensalawo ya kkooti ensukkulumu era kimenya ssemateeka.

Kyokka oludda lwa Gavumenti lwataputa obuwaayiro obwenjawulo era etteeka palamenti n’eriyisa oluvannyuma ne pulezidenti yalissaako omukono.

Kyokka Dr. Denis Daniel Ssemugenyi byonna ebyakolebwa abiyise kumenya ssemateeka era omusango yagukwasizza bannamateeka be abakulirwa Annet Okwera aba kkampuni ya O-A  Advocates mu Kampala baguwoze.