EGGAALI: Poliisi ekutte 35 abaanyaze abantu

POLIISI egaziyizza okunoonyereza okufuna obujulizi ku bavubuka abaakoze 'eggaali' ne bakuba n’okunyagulula abantu ku nguudo z’omu Kampala nga bambadde T-shirt za kyenvu.

Abakwate nga batuusibwa ku poliisi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI egaziyizza okunoonyereza okufuna obujulizi ku bavubuka abaakoze 'eggaali' ne bakuba n’okunyagulula abantu ku nguudo z’omu Kampala nga bambadde T-shirt za kyenvu.
Kiddiridde poliisi okukwata abavubuka 35 okuli; Joseph Luggwa, Mulan Shaban, Isaac Benjamin, Umar Nyombi, Abbas Umar, Derrick Ssemakula, Abdul Kadama, Joseph Mande, Godfrey Sserubiri n’abalala ku musango guno.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti ku Lwomukaaga ebibinja by’abavubua bagenda ku nguudo ez’enjawulo okuli; Nile Avenue, Station Road n’endala ne banyaga abantu emisana ttuku n’abamu ne bakubwa ne batwalibwako ebyabwe.
Yagambye nti obubinja bw’abamenyi b’amateeka bwakozesa akakisa ne bwerimbika mu kuwagira NRM era abavubuka abaabulimu ne bambala T-shirt z’ekibiina ekyo batambula ku nguudo ne babba abantu ku ssaawa 8:00 ez’emisana.
“Tusaasira bonna abatuusibwako obulumbaganyi buno era poliisi enoonyereza abeenyigira mu kikolwa kino bakwatibwe ebagatte 30 abaasoose okukwatibwa,” Rusoke bwe yategeezezza. Yagambye nti embeera bwe yabadde etabuse, abantu beekubidde enduulu ku poliisi eyakoze ebikwekweto n’ekwatayo 35.
Rusoke yagambye nti obubinja buno bwanyaguludde aba Mobile Money, okusikambula abaababadde batambulira ku pikipiki okwekiika mu maaso ga mmotoka ne batwala ebintu ku baabadde munda eraabamu ku baakoseddwa bagguddewo emisango ku poliisi. Rusoke yagasseeko nti poliisi yaakuddamu okwetegereza ebifaananyi ebyakwatiddwa kkamera zaayo erondoole abo abataakwatiddwa baggulweko emisango egy’enjawulo.
BASSE OWA
MOBILE MONEY
Poliisi enoonyereza ku kutemulwa kw'omuwala Sofia Nakiwolo eyattiddwa ku Nkurumah Road ng’agambibwa okufumitibwa ekiso.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Nakiwolo abadde ne Mobile Money, baamulumbye ne bamusibira mu dduuka ye oluvannyuma ne batwala ssente nga byabaddewo ku Lwomukaaga akawungeezi 

ABAALUMBYE OWA MOBILE MONEY POLIISI EBASUUZIZZA OMUNYAGO
Rusoke yagambye nti abaserikaleku poliisi y’e Nateete bakubye abazigu amasasi abaalumbye owa Mobile Money e Lungujja. Battiddewo babiri n’omulala n’afa ng’atwalibwa mu ddwaaliro.
Nabyo byabaddewo ku Lwamukaaga. Yagambye nti abaserikale baabadde mu kulawuna ne bawulira akuba enduulu ng’alaajana okumudduukirira era bwe baatuuseewo ne basanga abazigu abaabadde n’ebijambiya ne bagezaako okubayimiriza ne bagaana oluvannyuma lw’okukuba amasasi.
Yategeezezza nti abaserikale baabalondodde ne babasanga e Mengo ku ssundiro ly’amafuta erya Stabex ne bakubako 2 amasasi ne babasuuza n’omunyago omwabadde ensawo omwabadde obukadde 3, essimu 2, densite ssaako pikipiki nnamba UGE 294X n’endala etaabaddeko nnamba.