ABAVUZI ba takisi ku siteegi ya Nateete - Wakaliga batongozza obukulembeze bwabwe ne basuubiza okukolera awamu nga ttiimu balwanirire embeera z’abakozi n’okwekulaakulanya.
Abatongozeddwa ye; Andrew Hafashimaana, Charles Kazaawula (mumyuka), Didas Kibirige (muwandisi) ne Isma Luyinda (muwanika). Abalala ye; Elmizidi Bukenya (nsonga za siteegi n’abakadde), Farouk Sentongo (wa nsonga za batakisi) ne Twaha Sevvume (byakwerinda).
Olukiiko luno lubadde lumaze omwaka gumu n’emyezi 3 nga bakola nga lwa kiseera kuba wabaddewo ebyalina okutereezebwa. Okukakasibwa, bammemba baasoose kukuba kalulu.
Okusooka, Hafasimaana yasomedde abattakisi ssemateeka kwe banaddukanyiza emirimu omuli okwewala okuwemula, ebiragalalagala, ennyambala embi, obubbi n’ebirala nga singa gamenyebwa, kuliko ebibonerezo.
Hafasimaana yasabye banne okukolera awamu bagonjoole byonna ebibatawaanya. Mustafah Mayambala, amyuka ssentebe w’ekibiina ekitwala abavuzi ba takisi mu Uganda ekya UTOF ye yakubirizza olukiiko luno n’asaba abattakisi abalina obuzibu ku siteegi zaabwe obutabisirikira wabula babatuukirire bazigonjoole.
Yalabudde abalondeddwa nti singa tebeeyise bulungi, bannaabwe baakubaggyamu obwesige. Yalagidde olukiiko luno okutandikirawo emirimu gyalwo nga lwakumalako emyaka esatu.
Ssentongo atwala abavuzi ba takisi mu Nateete, yalangiridde nti singa akakiiko kano tekakola bulungi, amaanyi agabaggyako gali mu battakisi abaabalonze.