Nabakooba agabye ebyapa 1,100

GAVUMENTI ewadde abatuuze b’e Kikuube mu Bunyoro ebyapa ebikakasa obwannannyini ku ttaka, basobole okuwona emivuyo egiva mu butaba na biwandiiko bituufu ebiraga obwannannyini.

Minisita Nabakooba (mu ggomesi eya kyenvu) n’abamu ku bantu be yagabidde ebyapa e Kikuube.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

GAVUMENTI ewadde abatuuze b’e Kikuube mu Bunyoro ebyapa ebikakasa obwannannyini ku ttaka, basobole okuwona emivuyo egiva mu butaba na biwandiiko bituufu ebiraga obwannannyini.
Ebyapa ebiwera 1,100 bye byaweereddwa abatuuze 1,046 okuyita mu minisitule y’Ebyettaka, mu nkola ya gavumenti eya Systematic Land Adjudication and Certification (SLAAC), egendereddwaamu okuyamba Bannayuganda okufuna
ebyapa byabwe ku bbeeyi entono ennyo ate nga tebatawaanye kutindigga ng’endo.
Ebyapa byabakwasiddwa ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abakyala mu disitulikiti eno, ogwabadde ku kyalo Kyamasuuka mu Ggombolola y’e Bugambe. E Kikuube, buli muntu eyafunye ekyapa yabadde alina okusasula 85,000/- zokka, ebisigadde Gavumenti n’ebikolako. Abaaganyuddwa baavudde mu miruka okuli Kinogozi, Nyarugabu,
Kimbugu, Kisambo, Ruguse ne Kigaaya West Ward. Minisita w’Ebyettaka, Judith Nabakooba, eyakiikiridde Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja ku mukolo gw’okukwasa abatuuze ebyapa, yagambye
WA SHINGTON /AMERICA
PULEZIDENTI wa America, Donald Trump atabaganyizza amawanga; Rwanda ne Congo ne bakola endagaano ey’emirembe, ne yeewaana nti mu ddiiru eno America egenda kuyiikuula ebyobugagga bya Congo ebiri eyo mu utitimbe bwa ssente.
Endagaano eno yateereddwaako omukono baminisita b’Ensonga ez’ebweru mu Rwanda ne Congo, okuli Therese Kayikwamba Wagner wa Congo ne Olivier Nduhungirehe owa Rwanda, mu kibuga Washington mu America, nga Pulezidenti Trump yabaddewo, n’omumyuka we, James David Vance, ne minisita w’Ensonga ez’ebweru, Marco Rubio baabaddewo.
Okusinziira ku mukutu gwa The Guardian, Trump yagambye nti olutalo wa Congo ne Rwanda lubonyaabonyezza nnyo abantu ba bulijjo era e zimu ku ntalo ezisinga okuba embi ensi ze yali erabye, nga lubadde lulina okukoma mu bwangu.
Yayongeddeko nti mu ddiiru eno America efuniddemu ebyobugaggabingi era essaawa  yonna bagenda kutandika okubiyiikuula nga teri abakuba ku mukono. Congo erimu
ebyobugagga bingi ebikozesebwa mu kukola ebyuma ebya buli ngeri. Muno mulimu ebyobugagga nga tantalum, zaabu, cobalt, ekikomo (copper) ne Lithium, nga kati America yafunye olukusa okubisima nga bw’etwala.
Endagaano eno ebaddemu America ne Qatar nga abatabaganya, egenderedde okumalawo okusika omuguwa n’okulwanagana wakati wa Congo ne Rwanda, ng’emirundi egisinga
babadde balwana okuyita mu bibiina by’abayeekera, nga buli ludda lulumirizab lunne waalwo okutabangula emirembe.
Congo ezze erumiriza Rwanda nti y’evujjirira abayeekera ba M23, abaagala okuggyako gavumenti ya Congo, nga bagirumiriza okusosola n’okutulugunya abantu b’eggwanga
ly’Abanyarwanda ababeera e Congo, abamanyiddwa nga Abanyamulenge. Rwanda nayo erumiriza nti Congo evujjirira n’okubudamya abayeekera ba Democratic Forces for the Liberation of Rwanda (FDLR), ekibiina ky’abayeekera ab’eggwanga ly’aba Hutu abadduka e Rwanda oluvannyuma lw’ekittabantu ekyaliyo mu 1994.
Endagaano eyateereddwaako omukono egamba nti Rwanda erina okuggya amagye gaayo agali mu buvanjuba bwa Congo mu nnaku 90. Amagye gano Rwanda egamba nti yagasindikayo kulwanyisa bayeekera ba FDLR.
Era bakkaanyizza okuggyawo obubinja bwonna obwa baamukwatammundu naddala FDLR, okulaba ng’emirembe giddamu okubukala mu Congo, era buli ggwanga liteeke
ekitiibwa mu nsalo z’eggwanga eddala ezirambikiddwa mu mateeka.
Oluvannyuma lw’endagaano eyo, kati Congo, Rwanda n’abayeekera ba M23, bali mu Qatar mu nteeseganya ez’emirembe, okulaba bwe babeerawo mu Congo ey’awamu awatali kusosolwa.
nti ebyapa 26,000 bye birina okugabwa mu kitundu kino, era ebirala bikyakolebwako. Ku byapa 1,100 ebyagabiddwa, ebitundu 30 ku 100 bya bakazi.
Yakubirizza abaafunye ebyapa okubikozesa obulungi nga emisingo nga beewola
ssente, z’okwekulaakulanya, sso si kubitunda.
Yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’obukulembeze bwe obulengerera ewala n’ayamba
abantu b’e Kikuube ne Bunyoro okuwandiisa ettaka lyabwe bafune ebyapa, basobole okwekulaakulanya, ate baleme kubeera mu ntalo eziva ku butaba na iwandiiko bituufu. Ababaka ba Palamenti okwabadde omubaka omukazi ow’e Kikuube, Florence Natumanya Ateenyi, Francis Kazini (Buhaguzi County), ne Stephen Itaza (Buhaguzi  ast) baasabye enkola eno etalaage mu bitundu bya Bunyoro ebirala, kubanga enkaayana z’ettaka ziri waggulu nnyo mu bitundu bino. Baasabye abalonzi baabwe okukozesa  omukisa guno okukkalira ku ttaka lyabwe bakole pulojekiti ezibaggya mu bwavu