Bya Ponsiano Nsimbi
Ssentebe w'abasuubuzi mu katale k’e Nateete Bonny Kabugo ayimirizza ensimbi zonna ezibadde zisoloozebwa ku basuubuzi.
Kino kiddiridde omukulembeze w’eggwanga okufulumya ebiragiro ku butale bonna mu Kampala okuli okuddukanyizibwa KCCA, obukulembeze bw'obutale obuliko okusigalako okutuusa February 2022 ng'amateeka agafuga obutale gafulumye, okulung’amya empooza z'emisoso emirala mu butale, okulagira abasuubuzi bonna abali ku nguudo okuyingira obutale n'ebirala.
Bano baasazeewo okuyimiriza ensimbi zonna ezibadde zisoloozebwa okutuusa ku Mmande nga batudde ng'abakulembeze okulaba we bagenda okugya ssente okutambuza emirimu okuli; okusasula abakuuma, kasasiro, amazzi agw'okunaaba mu ngalo okwetangira ekirwadde kya Covid-19 n'ebirala ng’ebinaaba bisaliddwaawo baakubyanjulira abasuubuzi.
Kabugo agamba nti ku ky' tteeka erifuga obutale erya KCCA Market Ordinance ebirowoozo, abakulembeze bye bawaayo ku lw'abasuubuzi b’e Nateete byalekebwa bbali ate ne bye baasaba bikyusibwemu tebyakyusibwa.
Yayongeddeko nti baasaba dda gavumenti okubagaziyiza akatale, abasuubuzi abakolera ebweru basobole okuyingira munda ne kitakolebwa nga kati tebamanyi gye bagenda kuteeka batembeeyi, Pulezidenti be yalagidde okuyingira mu butale.