AKULIRA ofi isi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga, Hajati Hadijah Namyalo awadde abavubuka b’omu Ghetto y’e Katwe ebintu ebinaabayamba okubaggya mu bwavu n’abakuutira okwetandikirawo eby’okukola bave mu bubbi.
“Abavubuka abasinga be ndaba wano muli mu myaka mito nnyo egisaana okukola n’amaanyi wabula abamu mubadde mwekwasa nti temulina ntandikwa nze nga omuzadde kibadde kinnuma naye ekirungi nsobodde okubeerako kye mbaleetera okusobola okukyusa obulamu bwamwe,” Namyalo bwe yategeezezza.
Bino yabyogeredde mu lukung’aana lwe yakubye ku kasaawe k’e Katwe eggulo bwe yabadde atwalidde aba Ghetto, bamakanika ’abakyala abakolera mu butale (Katwe ne Kibuye) wamu n’abawal ‘banneekoleragyange’ ab’omu Makindye,
ebintu. Bonna yabawaddeentandikwa n’abakuutira okugitwata obulungi basobole okukyusa obulamu bwabwe Mu bintu bye yabawadde kwabaddeko ttulu bookisi 30, ze
yawadde bamakanika, emifaliso ne bulangiti bye yawadde bamaalaya b’ewa Kiwa ne Fifi buli kibinja bulangiti 50 n’emifaaliso 50, ebyalaani 50, ebyuma ebyokya enzigi
50, obuuma obwoza mmotoka, ssigiri ezisiika capati n’ebigenderako, ddulaaya z’abakyala ezikola enviiri, obuuma obukuba amatooffali, obusiika emberenge, obukuba ebinyeebwa, n’ebirala.
Jessca Lunkuse omu ku bamalaaya b’e Makindye yagambye nti amaze mu bwamalaaya
emyaka 23, kyokka ayise mu buzibu bungi kubanga mulimu gwa kinaku abadde tafunanga ssente z’afi ssaako okugula omufaaliso kyokka Namyalo
amuwadde gwa bwereere ne bulanketi. Musa Ssejemba yasiimye Museveni okubalondera Namyalo ateeyagaliza yekka kubanga olaba nabo abatamuwagira yasobodde okubagabira entandikwa.
Namyalo yagabye bodaboda 10 nga nnya yaziwadde basumba b’Abalokole mu Makindye enddala n’agabirako ab’omu katale k’e Kibuye, Abasiraamu n’abalala