Ssentebe wa kakiiko k'ebyettaka mu Kampala azziddwayo e Luzira

Omusango ogw’okubiri kigambibwa nti wakati wa November 2022 ne April 2023 ku kizimbe kya Kingdom Kampala abana beekobaana okuzza omusango ekikontana n’amateeka. 

Ssentebe wa kakiiko k'ebyettaka mu Kampala azziddwayo e Luzira
By Paul Galiwango
Journalists @New Vision
#Balondemu #Misango #Ddoola #Ssente

Ssentebe wa kakiiko k'ebyettaka mu Kampala, David Balondemu azziddwayo mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’ebbanga lya wiiki bbiri nga yaakayimbulwa ku kakalu ka kkooti okuva mu kkomera e Luzira ku misango gy’okufuna ssente emitwalo 30 eza ddoola okuva ku yinvesita Kyun Uk Kim.

Eggulo Balondemu yazzeemu n’akwatibwa nate ku misango emirala era n’asimbibwa mu kkooti ya Buganda Road Winnie Nankya Jatiko ne yeegaana emisango ebiri egy’okufuna ssente mu lukujjukujju n’okwekobaana okuzza omusango. 

Balondemu (ku ddyo) ne Ibona bwe bavunanibwa mu kkooti.

Balondemu (ku ddyo) ne Ibona bwe bavunanibwa mu kkooti.

Balondemu 53, omutuuze wa munisipaali y’e Kira mu Wakiso ne Joseph Ibona 33 omutuuze w’e Namuŋŋoona mu munisipaali y’e Lubaga omubazi w’ebitabo ne Bloom Advocates be baasimbiddwa mu kkooti omulamuzi Nankya n’abasomera emisango ebiri ne bagyegaana.

 Kigambibwa nti wakati wa November 2022 ne April 2023 ku Bloom Advocates ku kizimbe kya Kingdom Kampala Balondemu ne Ibona, Ronald Tumusiime Kaweesa Kizito nga olumu yeeyita Denis ne Mkwe Eric Geofrey baafuna ssente 533,000/ eza ddoola mu lukujjukujju okuva ku bannamateeka okuva ku KG UNLIMITTED LLC nga babasuubizza okubawa kontulakiti okuwa Minisitule y’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi  obunyonyi obukozesebwa mu kufuuyira ebirime (Agricultural drone Sprayers) wamu n’ebigimusa ekitaali kituufu.

Omusango ogw’okubiri kigambibwa nti wakati wa November 2022 ne April 2023 ku kizimbe kya Kingdom Kampala abana beekobaana okuzza omusango ekikontana n’amateeka. 

Oludda oluwaabi lwategeezezza kkooti nti okunoonyereza ku musango kukyagenda mu maaso nga Tumusiime yasimbibwa edda mu kkooti n’avunaanibwa era n’ateebwa ku kakalu ka kkooti wabula Mkwe akyayiggibwa.

Balondemu ne Ibona nga bayita mu bannamateeka baabwe nga bakulembedwa Caleb Alaka n’eyaliko omubaka mu mukago gwa mawanga g’obuvanjuba bwa Africa Fred Mukasa Mbidde n’abalala basabye abantu baabwe okweyimirirwa ne bategeeza nga  Balondemu bw’atawaanyizibwa obulwadde ng’alina okulongoosebwa enkya.

Wabula, kino kyawakanyiziddwa oludda oluuwaabi nga lukulembedwa Ivan Kyazze omuwaabi wa gavumenti n'ategeeza nga abazze okweyimirira bwe batalina bisaanyizo. 

Oludda oluwaabi lwaleese ekirayiro kya kkooti ekyakubiddwa omuserikale wa poliisi kopolo Okwakol John nga mwe yalagidde nti okuyimbula Balondemu kijja kugootaanya okunoonyereza nga n’abajulizi abamu ab’okulusegere ne Balondemu n’okukwatibwa kwabwe kyabadde kisa kya Katonda.

Bino byonna byawakanyiziddwa balooya ba Balondemu ne Ibona ne basaba kkooti obutakozesebwa kuggyako bantu ddembe lyabwe. 

Omulamuzi Nankya yategeezezza nti okusinziira ku biwandiiko ebyaweereddwayo n’okusaba kwa buli ludda, yeetaaga okuweebwa obudde okusooka okubisoma n’alyoka akola okusalawo era n’abasindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga November 22, 2023.