ssaabasumba Ssemogerere atenderezza aba St Mbaaga Major Seminary olw'enkulaakulana

Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paulo Ssemogerere asiimye Ssenkulu wa St Mbaaga’s Major Seminary Ggaba, Fr Dr Joseph Sserunjogi, ne Bassenkulu bonna abaamukulembera, olw’okukulaakulanya Seminario gyeyagambye nti wadde yatandikira mu kimpowooze, era nga ya ssaza ly’e Kampala lyokka, mukiseera kino eri kumutindo gwawaggulu, era nga yeeyunirwa Abaseminario okuva mu Uganda yonna, nemunsi z’ebweru. 

Okuva ku kkono:Ssaabasumba Ssemogere, Msgr Rogera Kabuye, Fr Serunjogi, Fr Mugalu,Fr Munyaneza, n'Abasaseredooti abalala
NewVision Reporter
@NewVision

Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paulo Ssemogerere asiimye Ssenkulu wa St Mbaaga’s Major Seminary Ggaba, Fr Dr Joseph Sserunjogi, ne Bassenkulu bonna abaamukulembera, olw’okukulaakulanya Seminario gyeyagambye nti wadde yatandikira mu kimpowooze, era nga ya ssaza ly’e Kampala lyokka, mukiseera kino eri kumutindo gwawaggulu, era nga yeeyunirwa Abaseminario okuva mu Uganda yonna, nemunsi z’ebweru.

Ssaabasumba Ssemogerere (akutte omuggo)n'abamu ku Basaseredooti nga bali n'Abaseminario abaatikkiddwa

Ssaabasumba Ssemogerere (akutte omuggo)n'abamu ku Basaseredooti nga bali n'Abaseminario abaatikkiddwa

Abakulembera Seminario eno era y’abasiimye olwokukolagana obulungi n’emikwano gya Seminario, n’ebitongole ebigaba obuyambi, Seminario eno n’eba ng’ekyafuna obuyambi obugyiyimirizaawo n’okugyikulaakulanya.

Ssabasumba obubaka bwe obw’okusiima y’abuweeredde kumukolo ogw’okutikkira Abaseminario, n’okusiibula Abadyankoni, ogwabadde ku Seminario eno, ku Luguudo lw’e Ggaba, mu Gombolola y’e Makindye, ku Lwokusatu nga May 21, 2025.

Kumukolo guno, Abaseminario ba St Mbaaga’s Major Seminary Ggaba, abakunukkiriza 50, beebaatikkiddwa Dipulooma ya Seminario eno, oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo gyabwe egya Philosophia ne Theologia. Bano era baaweereddwa ne Diguli mu Philosophia ne Theologia, okuva mu Pontifical Urban University e Roma.

Abaseminario abaatikkiddwa nga bagenda mu mmisa

Abaseminario abaatikkiddwa nga bagenda mu mmisa

Ssenkulu wa Seminario eno, Fr Dr Joseph Sserunjogi y’asinzidde kumukolo guno n’asiima abazadde olw’okwerekereza ebirungi, nebawaayo ssente,eziyambako kukusomesa n’okulabirira abaana baabwe mu Seminario. Oluvannyuma y’abasabye, bwebaba basindika abaana baabwe mu Seminario, balondemu abo bokka abalina eddiini, n’empisa ennungi, kuba bano beebasobola okufuuka Abasaserdootj abalungi abagasa, era abeegombebwa.

Abasaserdooti nga bali mu nnyiriri za mmisa

Abasaserdooti nga bali mu nnyiriri za mmisa

Y’ategeezezza nti omuseminario bw’ajja ngatalina musingi gwa ddiini, n’empisa ennungi ez’obugunjufu, mu seminario nebw’amalayo emyaka 30, abamutendeka tebasobola kumukyusa, n’annyonnyola nti buli kintu kyonna abagunjuzi kyebasomesa Abaseminario, kirina kuzimbira kumusingi omulungi gwebaba bazze nagwo okuva awaka, kubanga amaka ye Klezia esooka.

“Amaka gaamugaso nnyo, era gakola kinene mumulimo guno ogw’okugunjula n’okusomesa Abaseminario. Ffe eno mu Seminario tukola kyonna kyetusobola okulaba nga abaseminario bafuuka Abasaserdooti abalungi, naye emize egyimu gyebaba bavudde nagyo eka tuyinza obutasobola kugyibamalamu. Tolina ngeri gyoyinza kuddira lumuli n’olufuula omuvule. Awo nno bwemuba mutusindikira abaana, mutulonderemu mivule, sso ssi mmuli,” Sserunjogi bweyategeezezza.

Abaseminario abaatikiddwa y’abasabye baleme kulowooza nti byebasomye bimala, wabula bulijjo bafeeyo okwongera okusoma, basobole okufuna okumanya okusingawo.

Y’akyukidde Abadyankoni (abanaatera okulinnyisibwa ku ddaala ly’Obusaserdooti) n’abasaba  okuba abeegayirizi, n’okuweereza obulungi abantu ngababatusaako ekisa n’okwagala kwa Katonda, era ngababazzaamu essuubi.

Yabakubirizza n’okusigala nga batambulira kumazima g’Evanjiri ya Kristu, wadde nga ebintu byonna birabika nga by’afuuka bya matankane.

“Mugenda okuweerereza mumulembe omuzibu, ng’ebintu byonna byafuuka kifulannenge, ng’ekibi kyekigulumizibwa, ate ekirungi nekisekererwa. Weewunye engeri oli gy’asalawo okwetuuma erinnya eritiisa, okugeza AK47, Omutujju, Mulaasi, Bad Black, Chameleon, Kibijjigiri! Wewuunya ngeri oli gyasalawo okwambala empale enjuzeeyuze, gyebayita eya damegi, kubanga y’eri kumulembe! Enaku zino era tulina n’ebigambo by’etuyiiyizza, netusiiga emize emibi akazigo. Ebigambo nga okukuba enjawulo, okwogera obulungi, okukka e kasawo, ne ngalonkalu, nga bino byonna byekuusa kukugaba nguzi, okuba ow’akabi, n’ebirala. Eyo y’ensi mwemugenda okuweerereza, Kale mube n’okukkiriza, mubeere beegayirizi, ate abantu abatendewaliddwa mubazzeemu essuubi,” Fr Sserunjogi bweyakuutiridde Abadyankoni.

Akulira eby’enjigiriza mu Seminario eno, Fr Dr Matthias Wamala Abaseminario n’Abadyankoni abaamalirizza emisomo gyabwe naye yabasabye babeere balongoofu mubulamu babwe obw’omwoyo n’obw’omubiri, byebasomye biryoke bibagase, era bigase n’abalala.

Abaseminario nga basanyusa abagenyi n'amazina amaganda

Abaseminario nga basanyusa abagenyi n'amazina amaganda

“Kisobokera ddala omuntu okuba ng’amanyi ebyawandiikibwa kyokka nga tamanyi Katonda. Omuntu asobola okusoma ebikwata ku Yezu kyokka n’atawulira dddoboozi lye, okumanya Mwoyo Mutuukirivu n’amaanyi ge, naye n’atasobola kisisinkana Mukama, oba okumulabira mubatene. Tusobola okuyigiriza ku Yezu n’akawoowo k’olulimi, naye netulemwa okulabira ekifaananyi kye mubasosolwa, era netutatambula naye mukubonaabona, era netulemwa okusonyiwa. Ssinga tetukyusibwa  mubulamu bwaffe obw’omwoyo, eby’amagezi byetusuma tebijja okutugasa, era tuyinza okwekanga ngatufulumya Abaseserdooti abayingiriza Evanjiri nga oluwalo, era abatali bajulirwa ba Kristu,” Wamala bweyalabudde.

Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paulo Ssemogerere ers nga yeeyabadde omugenyi omukulu, y’asiimye Abaseminario olw’okuwulira eddoboozi lya Katonda abayita okuweereza mu Klezia we nga Abaserdooti, n’abakakasa nti Klezia ebeetagira ddala, era okusalawo kwebaakola kulungi. Naye y’abasabye abantu ba Katonda babaweereze nassanyu, n’okwagala, era babazzengamu essubi.

Ebirala eby’abaddewo

Ssabasumba y’atongozza enteekateeka z’ekijaguzo ky’emyaka 50 egya St Mbaaga’s Seminary Ggaba, ekinaabeerawo omwaka ogujja mga February 21 (2026).

Aba St Mbaaga’s Seminary baakulisizza Fr Dr Ambrose Bwangatto ne Fr Joseph Isanga, abagenda okujaguza emyaka 25 mu Busaserdooti.