Ogw'okujingirira empapula z'eddwaliro gusibisizza eyaliko ssentebe w'akakiiko k'ebyettaka

Eyali ssentebe w'akakiiko k’eby'ettaka mu Kampala, munnamateeka David Balondemu azzeemu okusimbibwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g'omulamuzi Ronald Kayizzi

Ogw'okujingirira empapula z'eddwaliro gusibisizza eyaliko ssentebe w'akakiiko k'ebyettaka
By Harriet Nakalema
Journalists @New Vision
#Kkooti #Ddwaaliro #Mpapula

Eyali ssentebe w'akakiiko k’eby'ettaka mu Kampala, munnamateeka David Balondemu azzeemu okusimbibwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g'omulamuzi Ronald Kayizzi oluvannyuma lw'okukwatibwa ku Ssande bwe yali yaakatonnya ku kisaawe ky'ennyonyi e Ntebe n'aggulwako emisango esatu.

Balondemu avunaanibwa  n'omusawo w'eddwaliro ly'e Mulago omutendeke Dr. Hassan Ssegujja n'abalala abatannakwatibwa.

 

Balondemu asimbiddwa mu kaguli n'asomerwa emisango esatu okuli ebiri egy'okujingirira ebbaluwa z'eddwaliro okuva ku ddwaliro lya Kampala Hospital mu kibuga Kampala n'okwekobaana okuzza omusango.

Kigambibwa nti bano emisango baagizza nga November 7,2023 ne nga June 12, 2023 ze yafunirako okweyimirirwa kwa kkooti ng’emisango gyonna Balondemu agyegaanye.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwa omuwaabi wa gavumenti, Viola Tusingwire lwategeezezza kkooti nga okunoonyereza ku misango gino bwe kwawedde kyokka ne basaba kkooti okuyisa ekibaluwa ki bakuntumye eri Ssegujja yeereete oba aleetebwe mu kkooti mu bwangu.

Oludda oluwawaabirwa nga lukulembeddwa Kamba Hassan lutaddemu okusaba kw'okweyimirirwa kwa Balondemu ne baleeta abamweyimirira okubadde ne mukyala we Sarah Naddumba era ne bawa n'ensonga lwaki kkooti yandikirizza okusaba kwe.

Baategeezezza nti amaze ebbanga lya nnaku nnya mu kaduukulu ka poliisi ,alina w’abeera era nti asaanidde okukkirizibwa okweyimirirwa.

Oludda oluwaabi lusabyeyo obudde okuyitaayita mu biwandiiko ebireeteddwa mu kkooti basobole okufuna kye baddamu ku kusaba kuno okw’ekweyimirirwa.

Omulamuzi wano w’asinzidde n’ayongezaayo omusango guno okutuusa nga October 21,2024 lw’agenda okuwulira n'okuwa ensala ya kkooti ku kusaba kw'okweyimirirwa.

Balondemu ne banne kigambibwa nti baafuna emitwalo 533000 eza ddoola okuva mu bannamateeka be aba KG Unlimited LLC nga babasuubizza  okubawa kontulakiti y’okuwa minisitule y'ebyobulimi , obulunzi n'obuvubi  obunyonyi obufuuyira ebirime buyite bu Drone kye bataatuukiriza.

Bwe yasimbibwa mu kkooti kwe kukola olukujjukujju n’abajingirira ebiwandiiko by'eddwaliro okusobola okusabirako okweyimirirwa wabula nga oluvannyuma kyazuulibwa nti ebiwandiiko bino byali bifu, ekyamuviirako okumuggulako emisango emipya newankubadde nga omusango ogwali gwasooka okumukwasa kkooti yagugoba olw'oludda oluwaabi okubulwa abajulizi abamulumiriza.