Kkooti ettukizza emisango 18 gye yali yagoba ku Balondemu ne banne egy'okufuna ssente mu lukujjukujju

Nov 13, 2024

David Balondemu eyali akulira akakiiko ka Kampala Land n'abalala 3 kkooti ebagguddeko emisango 18 omuli egy'okufuna ssente mu lukujjukujju.

Kkooti ettukizza emisango 18 gye yali yagoba ku Balondemu ne banne egy'okufuna ssente mu lukujjukujju

Harriet Nakalema
Journalist @Bukedde

KKOOTI ekomezzaawo emisango gye yali yaggya ku Balondemu ne banne egy'okufuna ssente mu lukujjukujju egyali gyagobebwa kkooti y’emu.

David Balondemu eyali akulira akakiiko ka Kampala Land n'abalala 3 kkooti ebagguddeko emisango 18 omuli egy'okufuna ssente mu lukujjukujju.

Emisango gino egyabavunaniddwa olunaku lw'eggulo gyali gyaggyibwayo mu masekatti g'omwaka guno omulamuzi Winnie Nankya Jatiko olw’oludda oluwaabi okulemererwa okubavunaana

Ibona Mu Maaso G'omulamuzi Wa Kkooti Ng'amusomera Emisango.

Ibona Mu Maaso G'omulamuzi Wa Kkooti Ng'amusomera Emisango.

Joseph Ibona 35, y'omu ku basatu abavunaanibwa ne Balondemu aleeteddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Dan Mwesiga n'asindikibwa mu kkomera.

Ono mubalirizi w’ebyensimbi mu kkampuni ya Bloom Advocates era nga mutuuze w’e Namungona, mu diviizoni y’e Rubaga mu disitulikiti y’e Kampala.

Abalala kuliko Eric Geoffrey Mkwe amanyiddwa nga Ivan Muhiire 31, omutuuze w’e Nalya mu diviizoni y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso ne Ronald Kaweesa Kizito 38, amanyiddwa nga Denis Tumusiime nga mubazzi.

Kigambibwa nti wakati w’omwezi gwa September 2022 n’omwezi gwa April 2023 mu Kampala, mu lukujjukujju baafuna ddoola za America 553,000 okuva mu kkampuni ya America KG Unlimited LLC ey’e Florida, e USA nga bayitira mu akaawunti ya Bloom Advocates mu Stanbic Bank ku ttabi lya Garden City.

Emisango emirala kigambibwa nti baajingirira empapula z’obulimba eziraga nga balaga zaatekebwako omukono Nicholas Tumwebaze ne Agnes Chandia nga bakola n’ekitongole ekiwandiisa kkampuni ekya Uganda Registration Services Bureau.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwa omuwaabi wa gavumenti Allan Mucunguzi lwategeezezza kkooti nga okunonyereza ku musango guno bwe kukyagenda mu maaso ne basaba olunaku okubuulira kkooti okunoonyereza we kunaaba kutuuse.

Mucunguzi asabye kkooti okuteekawo ekipapula ki bakuntumye ku basatu abatannakwatibwa. Ibona asindikiddwa mu kkomera e Luzira okutuusa enkya okuwulira okusaba kw’okweyimirirwa  ne banne abalala okwereeta eri kkooti.

Register to begin your journey to our premium content .