SSENTEBE w’akakiiko k’ebyettaka mu Kampala David Balondemu ateeredwa ku kakalu ka kkooti ka bukaddee 5 ez’obuliwo n'ateekebwako obukwakkulizo obutafuluma ggwanga.
Omulamuzi Ronald Kayizzi mu nsala ye nga amuyimbula amutaddeko akakwakkulizo k'okuleeta pasipooti ye mu kkooti era nga takkirizibwa kufuluma ggwanga okuggyako nga amaze okusaba olukusa okuva mu kkooti.
Bino nga tebinabaawo omulamuzi asoose kutuula mu kafubo wakati w'abannamateeka b'oludda oluwaabi nga kwotadde ne Balondemu era nga ensisinkano eno tekkiriziddwamu bannamawulire.
Olunaku lw'eggulo Balondemu nga akulembeddwamu bannamateeka be baataddemu okusaba okweyimirirwa wabula oludda oluwaabi n'elukiwakanya nga lwagala kkooti ereme kumuyimbula.
Omuwaabi wa gavumenti yawadde ensonga lwaki ono tateekeddwa kuyimbulwa nti essawa yonna webamuteera asobola okufulumya eggwanga n'ensonga eyokuba nti baludde nga baamuteekako ekiwandiiko n'ebatuuka n'okuyusa ebirango mu lupapula lwa New vision okweyanjula eri kkooti ekintu kyataakola.
Bannamateeka be baategezezza kkooti nga omuntu wabwe bwataafuna mukisa kusoma mawulire ago n'ebasaba kkooti ebeera eyekisa emuyimbule ku bukwakkuluzo obusaamusaamu.
Omulamuzi yakkirizza naayimbula Balondemu ku kakalu ka kkooti ka akakadde 5 ezoobuluwo ate abamweyimiridde n'ebalagirwa okuleeta obukadde 20 ezitali zaabuliwo.
Era yamulagidde okuleeta pasipooti ye eri kkooti wamu n'obutafuluma ggwanga nga tasoose kusaba lukusa okuva eri kkooti.
Balondemu avunanibwa emisango 3 n'omusawo w'eddwaliiro ly'e Mulago omutendeke Dr. Hassan Ssegujja n'abalala abatanakwatibwa.
Emisango egimuvunaanibwa kuliko ebiri egy'okugingirira ebbaluwa z'eddwaliro okuva ku ddwaliro lya Kampala Hospital mu kibuga Kampala n'okwekobaana okuzza omusango nga bano Balondemu gyeyegaana.
Kigambibwa nti bano emisango bagizza nga November7,2023 ne nga June 12,2023 zeyafunirako okweyimirirwa kwa kkooti.
Omulamuzi omusango agwongeddeyo okutuusa nga November 26 lwegugenda okutandika okuwulirwa.