EYALI ssentebe w’akakiiko k’ebyettaka mu Kampala, munnamateeka David Balondemu azzeemu okusimbibwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi oluvannyuma lw’okukwatibwa ku Ssande bwe yabadde yaakatonnya ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe n’aggulwako emisango esatu.
Balondemu avunaanibwa n’omusawo w’eddwaliiro ly’e Mulago, Dr. Hassan Ssegujja
n’abalala abatannakwatibwa.
Yasimbiddwa mu kaguli n’asomerwa emisango esat kuli ebiri egy’okujingirira ebbaluwa
z’eddwaaliro okuva ku ddwaaliro lya Kampala Hospital n’okwekobaana okuzza omusango.
Kigambibwa nti bano emisango baagizza nga November 7, 2023 ne nga June 12, 2023 bwe
baajingirira ebbaluwa ze yafunirako okweyimirirwa kwa kkooti ng’emisango gyonna Balondemu agyegaanye.
Balooya ba Balondemu nga bakulemberwa Hassan Kamba Hassan baataddemu okusaba,
omuntu waabwe okweyimirirwa, wabula Omulamuzi n’amusindika ku limanda okutuusa nga October 21, 2024.