Abagoberezi beeyiye mu lukung'aana okuwa obujulizi mu by’amagero ebituukiddwaako okuva mu njiri ey’okutuukiriza ebiri mu kubikkulirwa.
Olukung'aana luno olwetabiddwamu abantu 70,000 lwatuumiddwa "The 2024 Shincheonji Revelation Fulfillment Evidence Conference" lwabadde Busan mu South Korea.
Lugoberedde olwasooka olwaliwo nga September 25 e Masan.
Ssentebe w’ekkanisa eno Man Hee Lee yagambye nti ekkanisa zonna zirina okwegatta nga bagoberera ekigambo ky’okubikkulirwa.
Bino yabyogeredde mu maaso ga Bapasita 100 nabo abannyikizizza amaanyi n’ekinyusi ekiri mu kubikkulirwa.
Olukung'aana lwagenze mu maaso wakati mu kuyimba ennyimba ez'ekkanisa n’obuwangwa nga bajaganya n’okukuba akaluulu okwaniriza Lee.
Ekkanaisa ya Shincheonji, Church of Jesus, the Temple of the Tabernacle of the Testimony (ekulemberwa Chairman Man Hee Lee) ekuba enkung'aana zino ng’eyanukula okusaba kw’Abasumba n’Abagoberezi abali mu ssaza ly’e Yeongnam.
Okuva lwe yatandikibwawo mu Shincheonji, 1984, enkung'aana n’emisomo ekika kino gizze gikolebwa era abantu bangi bazibuse amaaso mu South Korea n’amawanga amalala ne banyweza okukkiriza.
Lee yakiggumizza nti okukkiriza kulina okubeera nga kugoberera ebyawandiikibwa mu Bayibuli.
Agambye nti ekipimo kyokka omuntu ky’ayinza okukozesa okuzuula oba ddala ekigambo ky’asoma ge mazima, ebyo ebimugambibwa birina kutuukirira.
Ategeezezza Abasumba nti oyo ayagala okumanya enjigiriza ya Shincheonji, Church of Jesus, agenda kuba agibaweereza buli mwezi bagisome ebannyikire.
“Abantu bonna bali kimu mu kukkiriza kubanga bakkiriza Katonda, Yesu n’ebyawandiikibwa ebitukuvu,” Lee bw’aggumiza.
Paasita Hwang okuva mu Independent Denomination, yagambye nti ekiseera kino ekkanisa ebitundu 70 ku 100 mu South Korea tezirina Sunday School we basomeseza baana.
Pasita Choi, okuva mu Presbyterian Church yagambye nti okuwulira ekigambo kya Lee kikyusizza nnyo endowooza ye.
N’akubiriza Basumba banne okunyiikira okuwuliriza kubanga buli lw’awulidde ebiri mu kubikkulirwa yeeyongera okunnyikira mu by’akola.
We tutuukidde ku nkomerero y’omwezi 'guo, n'oguwedde, ng’ekkanisa 727 mu South Korea zeeenyigira mu nkungaaana z’enjiri era zikoze endagaano ne Shincheonji, Church of Jesus okukolera awamu.
We twatuukidde September 5, 2024, ekkanisa 13,053 okuva mu mawanga 84 okwetoloola ensi, zaabadde zimaze okukola endagaano ne Shincheonji, Church of Jesus.
Ekkanisa endala 1,671 okuva mu mawanga 43 zo zakyukidde ddala ne ziyingira mu Shincheonji, Church of Jesus.