Covid 19 bwe yatuuka okunyiga ensi yajja mu ngeri ya kibwatukira, yakosa buli muntu era obuzibu bwe bayitamu obwava ku mbeera eyo bunyiga buli omu si bwabalondemu.
Kyokka alabudde nti buvunaanyizibwa bwa buli muntu okukolerera ensi etuuke ku ddala eryegombesa okugibeeramu nga bwe bagitegekera ebyasa ebiddako ng'erimu eddembe.
Yabadde ayogera mu lukung'aana olwategekeddwa e Makerere okulambika ku nteekateeka z'okunyweza emirembe mu nsi olwetabiddwamu abantu 1894.
Abeetabyemu kubaddeko; Bannamateeka, abakulembeze b'enzikiriza, abaamawulire, abasomesa.
Abakkiriza mu kusaba
Mu Uganda baalukwatidde Makerere kyokka ne mu bitundu by'ensi eby'enjawulo wabaddeyo olukung'aana lwe lumu.
Gubadde mulundi gwa munaana ng'olukungaana olufaanana bwe luti lukuzibwa okuviira ddala ku lwasooka okutuula ku kitebe kya HWPL nga September 18, 2014.
Olukung'aana lwakuziddwa ku mulamwa ogugamba nti: emirembe egya wamu gwe musingi gw'okukulaakulana.
Abantu abaweze 6,000 okuva mu nsi yonna nga ne Uganda kweri. Bategeezezza nti ensi tennaba kuvvuunuka Covid 19, ate zireese olutalo lwa Russia ne Ukraine olukosezza kumpi buli muntu okwetooloola ensi.
Okuva 2014, ekibiina ky’obwannakyewa ekya Heavenly Culture World Peace Restoration of Light (HWPL), ekiri ku ddaala ly'ensi yonna bebazze bawoma omutwe mu lukungaana luno ng'omu ku kaweefube wokuzza emirembe mu nsi.
Bye bakola babiragira ku mukutu gwa: https://youtu.be/UXlB4XzQHQ4
Sheikh Fayswal Buyonje, okuva b'enzikiriza ya Ahamadiyya yategeezezza nti enzikiriza yonna mu bikulu byerina okutuukiriza kwe kukolerera emirembe era kino HWPL kye bakolerera okugatta Africa.
Marinus Bee, akulira Palamenti ya Suriname, Palamenti mu buli ggwanga erina obuvunaanyizibwa okuzimba enteekateeka ezireeta emirembe n'okutangira obutabanguko ne yeeyama okukyongeramu amaanyi mu ggwanga lye nga bakolagana ne HWPL.
Engeri yeemu, Chung Young-min, akulira IPYG ategeezezza nti abavubuka ebeera mpagi nnene okuzimba emirembe ku ddaala ly’ensi yonna.
Yagambye nti balina enteekateeka (program) 1500 ez'abavubuka mu mawanga 59 okwetoloola ensi.