Abuulidde ku maanyi g'okubikkulirwa n'obumu mu buweereza

Apr 23, 2023

AKULIRA ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus, Pastor Man Hee Lee akubirizza abakulembeze mu nzikiriza ez'enjawulo okumanya ekyama ekiri mu kubikkulira lwe banaasonola okwogeza eddoboozi limu.

Abuulidde ku maanyi g'okubikkulirwa n'obumu mu buweereza

Steven Kiragga
Journalist @Bukedde

AKULIRA ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus, Pastor Man Hee Lee akubirizza abakulembeze mu nzikiriza ez'enjawulo okumanya ekyama ekiri mu kubikkulira lwe banaasonola okwogeza eddoboozi limu.

Asinzidde mu musomo gw'abakulira enzikiriza ogwategekeddwa aba Shincheonji Church n'agamba obujulizi abulina bwe batanbulira mu kubikkulirwa mwe bajja okufuna ekituufu.

Omusomo guno gubadde ku kkanisa yaabwe e Nansana omwakungaanidde Bapasita n'abakulembeze b'enzikiriza endala ab'enjawulo.

Man Hee abadde ku lutimbe ku mutimbagano ng’asinziira e South Korea okwogera mu lukungaana lw’abasumba n’abakuutira okubeera obumu kubanga Bayibuli ky’esomesa eri abo bonna abafunye okubikkulirwa.

Mu Uganda, Pasita Kim Eun Pyeong atwaala ekanisa ya Shincheonji mu Uganda yeeyabataputidde obubaka bwa Man Hee n'abategeeza nti Yesu gwe bagobereera wa mirembe nga talaba nsonga lwaki badda mu kulwanagana n’okweyogereera ebisongovu olw’ensonga entono ennyo naddala abagoberezi.

Omusomo gwabaddewo ku Lwomukaaga April 22, 2023 gwetabiddwamu abantu 1035 ku kanisa yabwe e Nansana mu wakiwo.

Kyokka ku matabi g’ekknaisa mu bitundu nga  Kasese,  Gulu, Palisa,  Mbarara Adjuman nayo baabadde ku ntimbe nga bagoberera.

Kim yagasseko nti ekiseera kituuse abasumba bonna okwegatta era babeere bumu mu kubuliira enjiri  ey’okuyamba abagoberezi babwe okukulakulana mu mwoyo saako ne byenfuuna era bayambagane nga kuba buli omu mukuumi wa mugandawe.

Yasiimye nnyo ssentebe wa kanisa ya Shincheonji munsi yonna Paasita Man Hew Lee olw’okuyamba ennyo okunyikizza enjiri naddala eri mu kitabo ky’okubikulirwa saako okubangula abasumba naddala ku bikusike ebiri mu bayibuli okwongera okutambuuza enjiri ya kristo ey’okuzukiira.

 

Mu kaweefube ono abasumba bano bakoze endagaano(MOU) ey’okukolera awamu ne kanisa ya  Shincheonji esinziira e South Korea mu kwongera okubangula abasumba naddala mu Uganda n’amawanga ga Africa okunyikizza obumu naddala mu bagoberezi babwe.

Abasumba okuva mu Uganda nga bakulembeddwamu James Lule wano webasinzidde nebakowoola banabwe okussa ebbali enjawukana zabwe oluusi zebasiga mu bagoberezi babwe wabula bongera okubeera ekimu nga kino kyakubayamba okwangaanga okusomozebwa okwenjawulo naddala ebyensimbi n’ebyomwoyo.

Lule yagasseko nti okwegatta ku kanisa eno era Shincheonji kiyambye amakanisa mangi okufuna obuyambi obwenjawulo obutaliiko bukwakulizo era nga na abasumba bongera okubangulwa mu mbeera z’omwoyo okusobola okwanganga sitaani omulabe omukulu ow’ekkanisa.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});