Ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus etikkidde abayizi 100,000 okubunyisa ekigambo kya Katonda

Nov 22, 2023

EKKANISA ya Shincheonji Church of Jesus etikkidde abayizi 100,000 mu nsi yonna okuva mu mawanga ag'enjawulo abakuguse mu misomo gy'eddiini.

Abamu ku bayizi abaatikiddwa

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

EKKANISA ya Shincheonji Church of Jesus etikkidde abayizi 100,000 mu nsi yonna okuva mu mawanga ag'enjawulo abakuguse mu misomo gy'eddiini.

Nga bayita mu Zion Christian Mission Center, bakulembedde omulimu gw'okubangula abantu okutegeera okubikkulirwa okuli mu Bayibuli n'amazima.

Abayizi abaatikkiddwa okubunyisa ekigambo kya Katonda okwetoloola ensi

Abayizi abaatikkiddwa okubunyisa ekigambo kya Katonda okwetoloola ensi

Emirundi ebiri egy'omuddiringanwa mu 2019 ne 2022 aba Shincheonji bazze batikkira abayizi mu misomo egifaanana bwe giti buli mwaka.

Omulundi guno omukolo gwabaddewo November 12, 2023 mu kisaawe kya Daegu Stadium e South Korea era abayizi 108,084 be baatikkidde oluvannyuma lw'okubasomesa okumala emyezi musanvu.

Akulembera ekkanisa eno, Paasita Man Hee Lee ng'atikkira abamu ku bayizi

Akulembera ekkanisa eno, Paasita Man Hee Lee ng'atikkira abamu ku bayizi

Be batikkidde babadde bava mu mawanga ag'enjawulo ekkanisa ya Shincheonji gy'erina amatabi okuli ne Uganda omwavudde abayizi 2,954. Amawanga amalala kuliko; Kenya ne Tanzania.

Akulembera ekkanisa eno, Man Hee Lee yagambye nti okukkiriza Kristo kubeera kutuukiriza ekisuubizo era guno gwe mulimu  ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus gw'ewomyemu omutwe okuyambako abantu okukituukiriza.

Yakuutidde be batikkidde okubeera ekitangaala ekibunyisa ekigambo ky'amazima buli we bagenda. Abantu ab'enjawulo baatenderezza omulimu guno ne bakunga abatannaba kutendekebwa beewandiise basobole okugabana ku birungi ebiri mu misomo gino.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});