SENTEBE w’ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus, Man Hee Lee avumiridde embeera y’entalo eziriwo mu nsi n’awabula nti zino si zentalo Yesu zeyasomesaako mu Matayo 24.
Asinzidde mu musomo gwa Bapasita ogubadde ku mutimbagano n’agamba nti bangi ebyawandiikibwa babitaputa kifuulannenge ne bakola obulumbaganyi ku balala.
“Ekiseera kino waliwo entalo mu nsi, naye mulowooza nti zino zentalo Yesu zeyayogerako? Nkakasa si zezzo” Lee bw’aggumizza.
Man Hee Lee ng'ayogera
Omusomo gwabaddewo April 23, era agamba nti ye mu kiseera ekyayita yali mulimi wabula olw’okubikkulirwa kwe yafuna, yasalawo okubunyisa enjiri olw’okubikkulirwa kwe yafuna n’alaba era n’awulira.
“Njogera amazima gendabye ne bye mpulidde mu kubikkulirwa okuva mu Matayo 24. Nsobola okumanya obwakabaka obulwanyisa obulala” bwe yannyonnyodde.
Agamba nti bwe yayogera ku Yerusalemi yali ategeeka okuggwa ky’abakkiriza era eyo ye kkanisa. Ensonga lwaki yabuyita Obwakabaka kwekubeera nti waliwo ekkanisa emu erwanagana n’obwakabaka bwa Setaani n’ekibi.
Bannaddiini okuva mu mawanga g'Africa nga bali mu lukiiko
Lee agamba nti kikulu okwawula obwakaba buno obwogerwako newankubadde nga Matayo teyabunnyonnyola. Omusomo guno gwetabiddwamu Bapasita okuva mu Masekkati ga Africa, South Africa ne North Africa.
Eno yeemu ku nteekateeka y’okubuulira enjiri ku mutimbagano egenda okubeerawo ku mukutu gwa Youtube (https://www.youtube.com/watch?v=FORMA57GHok) buli Mande n’Olwokuna okutuuka mu July.
Okusinziira ku kkanisa ya Shincheonji, esasaanidde mu Bapasita 2,155, seminary 22 n’amakanisa 958 mu mawanga 67 gye babunye era bakoze nabo endagaano