SENTEBE w’ekibiina ky’obwannakyewa ekya Heavenly Culture, World Peace, Restoration of Light (HWPL). Man Hee Lee akunze abantu babeere kitole nga balwanirira emirembe.
“Mubeera babaka ab’emirembe okutuusa eddembe n’okwagalana mu bantu ab’ekyasa ekiddako” bw’aggumizza n’abalabula okwewala embeera eriwo eya Russia bwe yalumbidde Ukraine kati bali mu lutalo.
Agambye nti wano aba HWPL webasinziira okwongera okukunga ensi yonna etandikewo enkola enaleeta amateeka agali ku mutendera gw’ensi yonnna nga gatangira entalo.
Kaweefube gwe baliko kwe kulaba nga wabeerawo enkola ennungamu eziyitibwamu okugonjoola emirembe naddala enkola ezigoberera eddiini.
Ng’omu ku kaweefube okunyweza emirembe, HWPL yayongedde n’ekola endagaano ne International Organization for Religion and Knowledge ab’e Buyindi.
Supalak Ganjanakhundee owa Thammasat University era eyali omukung’aanya omukulu owa Nation e Thailand, yagambye nti kikulu okuleka abamawulire okuwandiika ku nsonga z’okuzza emirembe kubanga kiwa abantu omwagaanya okuginyweza.