OLUKIIKO lw'obusiraamu mu disitulikiti ya Luweero lugye obwesigwa mu ssentebe waalwo lwa kweyigirau.kwekalakaasa kw'okuwakanya Mufuti Shabam Mubajje okweyongeza ekisamja
Ali Ndawula Sekyanzi eyaliko.omubaka wa Bamunaanika mu palamenti abadde amaze emyaka ebiri ng'akulembera olukiiko luno yagiddwaamu obwesige wakati mu kusika omuguwa mu bammemba mu lukiiko olwakubiriziddwa disitulikiti Khadi wa Luweero Sheik Ramadhan Mulindwa Nsanja olutudde ku kitebe ky'omuzigiti omukulu ogw'obusiraamu e Kasana
Kino kiddiridde Ndawula okwegatta ku basiraamu e Kampala ne beekalakaasa nga bawakanya Mufuti Mubajje okweyongeza ekisamja oluvannyuma lw'okuweza emyaka 70 ne bawera n'okugenda mu kkooti kunsonga eno
Ndawula yabadde ayitiddwa mu lukiiko luno okwennyonnyolako ku bikolwa by'okwekalakaasa nga tabebuzizzaalo kyokka teyalinyeeyo kukumya ne basalawo kumuzza ku bbali olw'okubamyooma

Abasiraamu e Luwero
Bammemba bagiddwaako amasimu ne bamnamawulite ne balagorwa okugira nga baamuka olukiiko olw'okwesalamu kunsonga eno.era wakatit mu kutaganjula ssemateeka w'obusiraamu okumala essaaeausamvu nga batakula emitwe baasazeewo okuzza Mdawula ku bbali omumyukawe Mohamed Matovu agire.ng'addukanya ekifokye
Ekiteeso ekigya obwesige mu Ndawula kyaleeteddwa Ahmed Amuza Ibrahim ne kisembebwa Ibrahim Lwetutte ne Mohamed Kalanzi Kajubi era bamemba 20 ne basemba
Disitulikiti Khadi yasomye akawaayiro 11 me 12 akakkiriza omumyuka wa ssentebe okugira mg'akola nga bwe bategeka okulonda nga mwe yasinzidde n'alayiza Mohamed Matovu
Matovu olumaze okulayizibwa n''asuubiza okuweereza mu mazima n'obwesimbu
Omwogezi w'obusiraamu mu disitulikiti ya Luweero Uthman Basajjannaku Lubega ategeezezza nti oluvannyuma lwa Ndawula okugyibwa mu ofiisi takyavunaanyizibwa ku bigenda mu.maaso era byakola abikola ku lulwe
NDAWULA AZZIZZA OMULIRO
Ndawula yagambye nti ebyakoleddwa tebyabadde mu mateeka kuba teyeewozezzaako n'akangazza nti akyali ssentebe kuba yalondebwa bantu nga be balina okuyita bamugyeko ssonga teri nsonga za ssimba kwe baasinzidde okumugyako wabula okumulanga okwogera ku Mubajje
" Siyinza kuva kunjovu nzire ku kamyu era nninze bbaluwa ne resolution butwefuke kuba obusiraamu bw'e Luweero nze gwe bwetaaga', bwe yagambye