PULEZIDENTI Yoweri Museveni ajjukizza Bannayuganda okuwagira enkulaakulana ereeteddwa mu bitundu byabwe nga bwe balowooza ku ky’okwongera ku nnyingiza mumaka gaabwe.
Museveni asinzidde Wakiso bwabadde atongoza okukola oluguudo lwa Bukasa-Sentema-Kakiri olugenda okuyibwa kkolaasi kitumbule eby’enytambula ssaako okukendeeza akalippagano k’ebidduka mu Kampala.

Museveni ng'ali ne mukyala we ssaako ne bannakibiina kya NRM e Kakiri
“Enguudo tuzikoze, nempereza endala nnyingi nnyo naye temulina kukoma kukuwaana buwanyi bikoleddwa kyokka nga mwe mumaka enfuna mbi. Kyova olaba tuleese pulogulamu ez’enjawulo ezikulakulanya nga PDM era bangi bafunyemu.” Museveni bweyayingeddeko.

Museveni en mukyala we nga bawuubira ku bantu
Yagambye nti Gavumenti yaleeta emirembe mu ggwanga oluvannyuma lw’olutalo nga kati omulamwa oguliwo gwa kukulakulanya bitundu kyokka n’okusingira ddala okuretawo enkulakulana mumaka.
Ategeezezza nti enguudo nnyingi ezikoleddwa oluvannyuma lwe yanunula Gavumenti mu bayekera nga kuluno lwe yatongozza kuliko nnyingi ezikoleddwa okuli olwa Nansana-Busunju, olwa Hoima, Mityana-Mubende-Fortportal, Masuliita-Kakiri, Matugga-Kapeeka, Kampala Gayaza eziyambye okuginza eby’entambula.
Ye CAO wa Wakiso Alfred Malinga yategezezza nti oluguudo olukolebwa luli wansi wa Greater Kampala and Metropolitan project nga luwezaako kkilommita 12 era nga lwa kuwemmenta obuwumbi 56.
Yategezezza nti enguudo nnyingi ezigenda okukolebwa mu Wakiso okuli nolwa Kitemu-Kisozi-Naggalabi olwatandise era nasiima Pulezidenti Museveni okubalowozaako kuba disitulikiti eri kumpi ne Kampala kyokka enguudo zaayo zikaabya.
Rdc wa Wakiso Justine Mbabazi yebazizza nnyo Museveni olw’okufaayo okureeta pulojekiti ezikulakulanya abantu era nawa obujulizi nti disitulikiti ye Wakiso yemu ku zisinze okufuna ssente za PDM ate abazifunye nebazikozesa bulungi.