SSABAWOLEREZA wa Buganda asabye wabeewo okugunjula kw'omwana ow'obulenzi

SSABAWOLEREZA wa Buganda, Christopher Bwanika alaze obwetaavu bw'eggwanga okuddamu okuteeka essira ku ngunjula ennungamu ey'abaana Abalenzi.

Ssabawolereza wa Buganda Christopher Bwanika (owookubiri okuva ku Ddyo) nga yeegatiddwako abakulu abalala okuli Can. Kiwanuka Mazinga (Ali ku ddyo), Minisita Israel Kazibwe (owookubiri okuva ku kkono)
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

SSABAWOLEREZA wa Buganda, Christopher Bwanika alaze obwetaavu bw'eggwanga okuddamu okuteeka essira ku ngunjula ennungamu ey'abaana Abalenzi.

Bwanika agamba nti abazadde bafudde nnyo ku kutumbula omwana omuwala ne bagayalirira Abalenzi ng'ate obutabanguko mu maka n'efujjo erikolebwa naddala mu biseera ng'ebyokulonda, bikolebwa abalenzi abo abatafiibwako!

Okwogera bino asinzidde Bukesa mu Kampala ku mukolo gw'okuggulawo ekisulo ky'abayizi abalenzi ekiyitibwa Royal Boys Hostel nga kyeyambisibwa abayizi ba Mengo SS.

Abayizi ku mukolo

Abayizi ku mukolo

Wasoosewo okusaba nga kukulembeddwa Ddiini wa Lutikko y'e Namirembe Can. Dunstan Kiwanuka Mazinga abadde ne Mukyala we ng'ono yeebazizza Omutandisi w'ekifo kino Omulangira Tonny Wasajja olw'okukitandiika nekiyamba okulera abaana Abalenzi bwatyo n'asaba buli yenna aliko omulimu gw'akola okugumaliriza. 

 Omulangira Wasajja alabudde abazadde ku ky'obutafaayo kumanya mbeera z'abaana baabwe nebafundikira ng'empisa zebabamanyiko njawufu neezo eziri mu bulamu bw'abaana ezaddala. 

Minisita Kazibwe ng'ayogera

Minisita Kazibwe ng'ayogera

Akulira abazadde b'abaana abasuula mu kisulo kino, Deborah Nabbanja ng'ono era y'akulira abakozi mu kitongole ky'ebyensimbi ki Ugafode, agambye nti ekiseera kituuse omwana omulenzi, adde mu kifo kye n'alaga obwenyamivu nti abaana abalenzi tebakyalina kwekiririzaamu wadde mu kusaba emirimu.

Omulangira Tonny Wasajja ng'alaga Bwanika Ejjinja eryatereddwa ku kisulo

Omulangira Tonny Wasajja ng'alaga Bwanika Ejjinja eryatereddwa ku kisulo


Dalton Kimera n'Olukiiko lwe, alayiziddwa ng'omukulembeze wa banne  era Minisita avunanyizibwa ku mawulire, Okukunga abantu era Omwogezi w'Obwakabaka, Israel Kazibwe n'abasaba okutwala obuvunanyizibwa buno ng'ekikulu kubanga bugendererwamu okubatendeka okubeera abakulembeze ab'obuvunanyizibwa.