MNINISITA wa Microfinance Hajji Haruna Kasolo awadde aba takisi obuwumbi busatu mu SACCO yaabwe basobole okuzeewola ku magoba amatono kibayambe okugula mmotoka ezitiika abantu 21 okuva kuza abantu 14.
“Nze bulijjo nneewunya ba ddereeva ba takisi lwaki mulemereddwa okugaggawala nga ate muli bawagizi ba gavumenti ya NRM ne mulemwa okukozesa omukisa guno okututtukkirira ne tubawoola ensimbi ku magoba amatono ne musobola okwekulaakulanya ne muva mu bwavu naye kemukitegedde nnange kantandike n’okubagezeesa n’obuwumbi busatu bwentadde mu SACCO yamwe eya “Kampala Public Transporter’s Sacco”.
Ayongeddeko nti omulimu gwa takisi abagusookamu bali bagwonoona nga bwoyogera ku mugoba wa takisi abantu baabamaanyiiko kimu kwaggala kuzaala baana bangi nakuwasa bakazi bangi naye bwemubeera mukyusizaamu mu nkola yamwe mbaniriza era katutandikire awo.
Minisita Kasolo ng'ali mu office z'abakulembeze ba Taxi
Minisita Kasolo yawadde aba takisi amagezi nti minisitule ye yandibawadde ssente ezisinga obuwumbi obusatu bw’agenda okubaawa mu SACCO yaabwe kyokka balina okusooka okuyiga okweterekeera gamba singa ba mmemba ba SACCO ya takisi eno 2500, batandika okwetereekera nga buli lunnaku 10,000/= gwokka olunnaku babeera batereeka obukadde 25, wiiki bwe bukadde 125, ate omwaka bwe buwumbi mukaaga [6] kati lwaki munnaddamu okwewola ssente za bbanka ez’amagoba.
“Kino bwe munakikola emyaka ebbiri mugenda kubeera namwe mwetandikiddewo bbanka yamwe nga mwewoleera ku magoba amatono ddala oluvannyuma nga mutandika nakukwata ttenda za gavumenti gamba nga okuyoola kasaasiro mu kibuga Kampala ne mwongera ku nnyingiza ya SACCO yamwe” Kasolo bweyategezezza.
Ssentebe w’ekibiina kya UTOF ekitwala omulimu gwa takisi mu Uganda Rashid Ssekindi agambye nti takisi balina ba ddereeva abasukka emitwalo 20, kyokka abantu abalya ku takisi awamu basukka obukadde omukaaga mu ggwanga.
“Tulina siteegi za takisi 200 mu ppaaka z’omu Kampala zokka ezigenda mu disitulikiti 103” Ssekindi bwategeezezza.
Yagambye nti abbanga lyonna abantu ab’enjawulo bazze balwanyisa omulimu gwa takisi ne batuuka n’okwagala okututwakako ppaaka yaabwe enkadde nga beguzizza mu polooti kyokka Pulezidenti Museveni bwetwamutuukirira nabayimiriza era naddamu nagiddabiriza kati lwaki tetumuwagira akomewo ku bwa Pulzedenti atumaanyidde ennaku yaffe.
Minisita Kasolo ng'ayogera n'abakulembeze ba Taxi
Museveni bweyagasseeko ekky'okutuggyirawo ebipapula bya kkamera za poliisi bye baabadde batandise okutukuba kyatuwaliriza n’okuyungula ekibinja kya ba ddereeva baffe 1200, okwetoloola Uganda yonna okutandika okunoonyeza Museveni akalulu era ye nsonga lwaki twatongoza offiisi ya NRM mu Kampala ku kizimbe kya Nalubwama egenda okumunoonyeza akalulu ka 2026.
Offiisi eno egguddwawo minisita Kasolo ne meeya wa Kampala Central era ssentebe wa NRM mu Kampala Salim Uhuru eyabagulidde T.V kwe banalabira nga ebigenda mu maaso n’abaawa n’emitwalo 50