ABATEMU balumbye ssentebe w’ekyalo, Sabbiti Kibirango 72, e Masaka ne bamutta omulambo gwe ne bagusuula ku Klezia.
Kigambibwa nti yattiddwa mu kiro ekyakeeseza Olwokubiri oluvannyuma lw’abantu abatannategeerekeka okumukubira essimu ku Easter Monday akawungeezi nga bamuyita wabula teyakomawo.
Kibirango abadde ssentebe wa Mbaale A mu Town Council y’e Kagologolo mu disitulikiti ye Bukomansimbi.
Abatuuze bagamba nti ku Easter Monday ku ssaawa nga 1:00 ey’akawungeezi, omugenzi yalabwako mu sitenseni ye Kagologolo ng’ali ku pikipiki ye n’akyama ku dduuka erimu okugula obutunda n’ekindaazi asobole okufuna eky’okusiibulukukirako.
Wabula oluvannyuma yafuna essimu bwatyo n’asitukirawo nga akutte erindaazi lye n’agenda okusisinkana eyali amukubidde. Wabula bw’atuuka kukya nga takomyewo.
Ku makya abatuuze baakedde kulaba pikipiki ye nga yasuze mu kasitenseni ekyabawalirizza okutandika okumukubira amasimu nga takwata.
Ekyaddiridde kwabadde kutandika muyiggo gwa kumunoonya buli we baabadde bamusuubira n’ababula.
Ku ssaawa 11:00 ez’akawungeezi omulambo gwa Kibirango gwalabiddwa omukadde Resty Nansubuga eyabadde agenze okunoonyeza embizzi ze ebyokulya. Gwabadde mu kimwaanyi emabega wa Klezia ye Kagologolo.
Nansubuga yakubye enduulu eyasombodde abatuuze okutuukawo nga ku Kibirango kwe bakuba amaaso.
Baayise abakulira ebyokwerinda nga bakulembeddwa RDC Jane Frances Kagayi, omumyuka we Fred Kalema Pax ne poliisi ye Bukomansimbi.
Zulaika Nalubega, mukyala muto wa Kibirango yategeezezza nti yakoma okulaba bba ku Lwokuna lwa wiiki ewedde era n’agenda mu kyalo ewaabwe okulya ennaku era nga yakomyewo ku Easter Monday akawungeezi.
Mwannyina w’omugenzi, Muwajuma Nakandi agamba nti baakoma okulaba Kibirango ku Mmande ng’agenze okutema amatooke mu lusuku lwe wabula ku Lwokubiri ku makya ate abaana b’omugenzi baakeera ewuwe nga banoonya kitaabwe ne batakitwala nga nsonga nga balowooza nti engeri gy’abadde n’abakyala abasukka mu omu, yandiba nga yasuze mu maka malala. Nabo kyababuuseeko okuddamu okufuna amawulire nti attiddwa. Yaziikiddwa eggulo e Bukomansimbi.