OMUYIZI w'essomero lya Iganga SS ow'emyaka 15, abantu abatannamanyika, bamukakkanyeeko ne bamukuba ne bamutta.
Ettemu libadde Nabidunga mu Central Division e Iganga , bwe basse Muhamad Likado ng'ava ku ssomero okudda awaka e Nabidunga.
Kafaayo Micheal Busoga East
Kigambibwa nti abaamusse kuliko Swaibu Isabirye 20, nga muyizi mu siniya ey’okutaano, Nelson Mayanja { amanyiddwa nga Nkuyenge } Shafik Buyinza 20 n'omulala Naifu Isiko { Gost } nga nabo bayizi mu ssomero erimu mu kitundu ekyo.
Kigambibwa nti omwana ono, yagudde ku kibinja ky'abayizi bano, ne bamukuba ku mutwe emiggo ne bamuleka ng'ataawa , nti bwe bamutuusizza awaka, kitaawe Muhammad Waiswa n'amwongerayo mu ddwaaliro gy'afiiridde.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kafayo, agambye nti abamu ku bano, basatu bakwatiddwa era babaggalidde ku poliisi y’e Iganga ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.