Byakagaba agumizza ku by'okulonda mu ssembabule

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Abbas Byakagaba, agumizza Bannayuganda ng'ebyobufuzi e Ssembabule bwe bigenda okubeera ebikkakkamu.

Byakagaba agumizza ku by'okulonda mu ssembabule
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Kulonda #Ssembabule

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Abbas Byakagaba, agumizza Bannayuganda ng'ebyobufuzi e Ssembabule bwe bigenda okubeera ebikkakkamu.

Annyonnyodde nga bwe bongedde abaserikale nga balawuna mu mmotoka ne ppikippiki, okulaba nga wabeerawo obutebenkevu.

Byakagaba abadde Ssembabule era n'asaba abatuuze okwongera okukuuma emirembe n'obutebenkevu.

Akikkaatirizza ng'abaserikale bwe bataliiko ludda mu byobufuzi nti wabula okukuuma emirembe, Bannayuganda basobola okulonda abakulembeze be baagala.