ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akalondoola ensaasaanya y’omuwi w’omusolo bagobye abatwala eddwaliro lya Entebbe Regional Referral Hospital olw’eby’obulamu ebigootanye ku ddwaaliro nga kati bayise ba minisita okuli ow’ebyobulamu Jane Ruth Aceng n’oweebyensimbi Matia Kasaija okunnyonnyola.
Akakiiko Ka Pac Nga Katudde N'ab'e Ntebbe.
Kizuuliddwa nti eddwaaliro lino teririna bikozesebwa Bimala. Amyuka ssentebe w’akakiiko kano, Gorreth Namugga okutuuka okugoba bano kiddiridde okwekenneenya alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka 2023/24.
Bwe beekenneenyezza alipoota eno baakizudde nti eddwaliro lino teririna byuma bimala ate nga lijjanjaba abantu okuva mu disitulikiti mukaaga nga n’abasaawo abaliwo bali ebitundu 21 ku 100.
Namugga agambye nti eky’enyamiza bano tebalina yadde ekitanda abakyala kwe bazaalira mu kadde kano nga n’ebyuma bye balina bikadde nnyo.
Dr. John Bosco Nsubuga Akulira Eddwaliro Lya Entebbe 1212
Ababaka bakizudde nga bano era tebalina kifo we batereka ddagala libaweebwa nga sitoowa mwe bagatereka gonooneka nga agasinga tebannakozesebwa.
Wabula, mu kunnyonnyola ku nsonga eno, akulira eddwaliro lino, Dr. John Bosco Nsubuga ategeezezza nga bwe baasaba aba National Medical Stores okubayamba ne konteyina mwe batereka eddagala yadde ng’ate okusaba kuno ate baali tebalina kukuyisa mu bano.
Namugga agambye nti olw’embeera eno yonna, tebayinza kukkiriza bantu kuwuuddiisibwa na kutindigga ng’endo okugenda okufuna obuweereza bwe basuubira Entebbe ne batabusangayo nga kati ayise baminisita okuli Aceng ne Kasaija bannyonnyole obuzibu we buva.