ABABAKA ku ka palamenti akalondoola ensasaanya y’omuwi w’omusolo bagobye abatwala eddwaliro lya Entebbe Regional Referral Hospital olw’eby’obulamu ebigotanye ku ddwaliro nga kati bayise bba minisita okuli ow’eby’olamu Jane Ruth Aceng now’eby’ensimbi Matia Kasaija okunyonyola ku mbeera eyeralikiriza nga lino teririna bikozesebwa bimala.
Amyuka ssentebe w’akakiiko kano Gorreth Namugga okutuuka okugoba bano kidiridde okwekenenya alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka 2023/24, ne bakizuula nga eddwaliro teririna byuma bimala ate nga lijanjaba abantu okuva mu zi disitulikiti mukaaga nga n’abasaawo abaliwo bali ebitundu 21 ku 100.
Namugga agambye eky’enyamiza bano tebalina yadde ekitanda abakyala kwebazaalira mu kadde kano nga n’ebyuma byebalina bikadde nnyo.
Ababaka bakizudde nga bano era tebalina kifo webatereka ddagala libaweebwa nga sitoowa mwebagatereka gonooneka nga agasinga tebanakozesebwa.
Wabula mukunyonyola ku nsonga eno, akulira eddwaliro lino Dr. John Bosco Nsubuga ategeezezza nga bwebasaba aba National Medical Stores okubayamba ne konteyina mwebatereka eddagala yadde nga ate okusaba kuno ate baali tebalina kuyisa mu bano.
Namugga agambye nti olw’embeera eno yonna tebayinza kukiriza bantu kuwuudiisibwa nakutindigga ngendo okugenda okufuna obuwereza bwebasuubira Entebbe nebatabusangayo nga kati ayisa ba minisita okuli Aceng ne Kasaija banyonyole obuzibu webuva.