ABASERIKALE ba poliisi beekanze, omuyimbi Patrick Mulwana amanyiddwa nga Alien Skin bwe yakutte ka bbomu akaazuuliddwa mu musingi gw’ennyumba ye n’akabatwalira ng’akakutte mu ngalo.
Byabaddewo gye buvuddeko, abazimbi ku nnyumba ya Alien Skin esangibwa e Nakinyuguzi mu divizoni y’e Makindye bwe beekanze nga basima ne baziikuula ekintu kye baateberezza okubeera bbomu ey’omu ngalo.
Baategeezezza Alien Skin naye n’akubira poliisi ejje era abaserikale bwe baatuuse, beekanze Alien Skin bwe yakutte ekintu kino n’akibaleetera nga bw’abalaga.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti abaserikale abakugu mu kutegulula bbomu abaagenzeeyo baamulagidde okukiwummuza wansi era ne basaba abantu okweyongera ewala, ne bateekawo ebyuma ebikkakkanya bbomu okutabwatuka n’amaanyi.
Baagiteguludde era olwabwatuse, baagyekebezze ne bakizuula nti eno yabadde bbomu ey’omu ngalo eyakolebwa mu Russia. Abaserikale baalabudde abantu okwewala okukwata ebintu bye baba beekengedde.