Uganda ewanduse mu Rugby World Cup

Kenya yasanguddewo essuubi lya Uganda okugenda mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ekya rugby bwe yabakubidde ku butaka ku luzannya lwa kwota.

Uganda ewanduse mu Rugby World Cup
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

Kenya yasanguddewo essuubi lya Uganda okugenda mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ekya rugby bwe yabakubidde ku butaka ku luzannya lwa kwota.

Kenya Simba yamezze Rugby Cranes ku bugoba 32-24 mu mpaka ezaatadde abawagizi ku bunkenke mu kisaawe kya Mandela National Sports Complex e Namboole eky’ebweru.

Kino nakyo kati kyakolebwa ku mulembe nga eky’omunda era nga kya muddo muzuungu.

Uganda ng'ettunka ne Kenya mu Rugby

Uganda ng'ettunka ne Kenya mu Rugby

Abazannyi, Aaron Ofoywroth, Phillip Wokorach ne kapiteeni Byron Oketayot be baateekedde Uganda.

Ekitundu ekisooka kyaweddeko nga Kenya ekulembedde 2-7.

Uganda yawadde abawagizi essuubi mu mupiira ogwalabiddwa n’eyaliko Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda bwe basemberedde Kenya ku bugoba 24-29.

Wabula Kenya yayongeddemu jjiya okuteeba obubonero busatu mu ddakiika eye 80 ne guggwa.

Omutendesi Fred Mudhola yategeezezza nti gwadde mukisa mubi.

“Twetegese ekimala naye tetwabadde na mukisa. Kati tulina okufuba okuwangula emipiira ebiri egisigadde okusigala mu kibinja,” bwe yategeezezza.

Wabula Uganda yakyusizza abazannyi mukaaga ng’ebinywa byesibye ekiraga nti fiitineensi yabuzeemu, so nga Kenya baakyusizza omu yekka.

Oluzannya luno lwalabiddwa abakungu ba World Rugby, Jonathan Webb ne David Carrigy wamu ne pulezidenti wa Africa Rugby, Herbert Mensah.

Rugby

Rugby

Enzannya ziddamu ku Ssande ne Semifinal bbiri ng’emu balwanira kikopo awangula agende mu World Cup ate ng’endala balwanira bifo.

Abalwanira ekikopo ye Zimbabwe (abakirina), Algeria, Namibia ne Kenya ate abalwanira ebifo okuva ku kyokutaano ye Uganda, Morocco, Senegal ne Ivory Coast.

Aba World Rugby ekikopo baakitutteko ewa Pulezidenti Yoweri Museveni ng’empaka tezinaba.

Oluzannya lwa Kwota muza Africa Cup 2025

Zimbabwe 43 – 8 Morocco

Algeria 41 – 6 Cote D’Voire

Namibia 55 – 17 Senegal

Uganda 24 – 32 Kenya

Semifinals – Ku Ssande

Abalwanira ekikopo:

Kenya v Zimbabwe

Namibia v Algeria

Abalwanira ebifo:

Uganda v Morocco

Senetal v Cote D’Voire