SSENTEBE alagiddwa okusasula obukadde 10 mu kkooti gwe yeeyimirira bw'atalabiseeko nga bwe yalagirwa.
Meddie Mugerwa 59, ssentebe wa Kazo - Central zooni yabadde mu kkooti yamaggyr nategeeza nti gwe yeeyimirira amulemeredde era mwetegefu okusasula akakalu akaamuteekebwako.
Mugerwa era yasabye kkooti emusazeemu ku by'okweyimirirwa Charles Simon Chandia kibanga Chandia mugyeemu nga tayagala kweyanjula mu kkooti.
Fayiro yayitiddwa nga Chandia taliiwo kyokka looya we Capt Simon Nsubuga Busagwa n'ategeeza nti abaddewo.
Omuwabuzi wa kkooti mu mateeka Col Richard Tukachungura yalagidde Mugerwa asasule akakalu ka bukadde 10 ezaamuteekebwako kkooti bwe yali eyimbula Chandia.
Chandia avunaanibwa n'abalala okuli Bob Ayiko, Lozio Nyago, ssaako John Wycliff Lutaaya nga bavunaanibwa okubba zzaabu kiro 30 ezibalirirwamu ssente ezisoba mu buwumbi mukaaga nga bakozesa ekissi ky’emmundu.
Oludda oluwaabi lugamba nti nga April 14, 2022 wakati wa Bweyale ne Kiryandongo ku luguudo oluva e Gulu okudda e Kampala babba kiro za zzaabu 30 okuva ku Mutanzalha ne Charles Gaville.
Zzaabu ono yali abalirirwamu ddoola 1,700,000$ nga zisukka mu Uganda obuwumbi mukaaga.
Kigambibwa nti wakati oba oluvannyuma lw’obunyazi obwo, abawawaabirwa baali balina emmundu ekika kya SMG egambibwa nti ya bamukwatammundu aba UPDF.