SSENTEBE wa disitulikiti ye Lwengo, Ibrahim Kitatta atadde ku nninga omusawo w’ebisolo mu disitulikiti, Dr. Samuel Mukuye annyonnyole ku bbaluwa gye yafulumizza ng’eraga ng’abalunzi babiri bwe baalumbiddwa obulwadde bwa Anthrax ku ffaamu zaabwe.
Kino kiddiridde omusasi waffe okutuuka ku kyalo Mijuma A mu ffaamu ya John Kinkumu agambibwa nti yalumbiddwa ekirwadde kino kyokka mukyala we yeewuunya abakugu gye baggye amawulire ge yayise ag’obulimba. Yategeezezza nga bwe batabangako na ffaamu ya nte era balina ente emu n’embuzi emu.
Muky. Kinkumu yasabye Gavumenti emukwasizeeko kuba abakugu balabika nga bamulabamu ak’enkizo nti asobola okuba ne ffaamu.
Ebbaluwa Omusawo Gye yafulumizza
Ssentebe w’ekyalo kino, John Nsambu yagambye nti omutuuze we alina ente emu era nga talina ffaamu alundira waka we.
Omusasi waffe yagenze ku kyalo Kiteredde awagambibwa nti mu ffaamu ya Lawrence Kasule mwafuddemu ente nnya olw’ekirwadde kya Anthrax.
Ssentebe w’ekyalo kino Lauben Byakatonda yasambazze ebyogerwa nti ku kyalo kye kuliko ffaamu y’omulunzi ono n’agamba nti Lawrence Kasule tamumanyi ku kyalo kye era n’ekyalo kino tekuliiko ffaamu yonna nga n’abasawo abakebera ente ezoogerwako tabalabangako ku kyalo kye.
Bino olwagudde mu matu ga ssentebe wa disitulikiti Ibrahim Kitatta n’akubira Dr. Mukuye essimu amubuulire oba ddala ebyogerwa bituufu, nga awuuna buwuunyi.
Kitatta yeewuunyizza omusawo w’ebisolo okutamwattamwa nga takakasa ku kiwandiiko kye yafulumya n’alagira abasawo okuddamu okukebera ente.
Bo abatuuze bavumiridde ekikolwa eky’omusawo eyafulumizza amawulire gano ne bakissa ku ntalo z’ebyobufuzi eziri mu Lwengo ezivaako enkulaakulana okudda emabega.
RDC Hajji Ramathan Walugembe ku nsonga y’ebbaluwa omusawo gye yamuwadde, yagambye nti batandise okunoonyereza ku nsonga eno wabula n’akuutira Bannalwengo okugira nga bakyesonyiwa ebintu ebiva mu bisolo.