POLIISI ye Kyazanga mu disitulikiti ye lwengo erinnye eggere mu bakozi abayoola kasasiro mu tawuni kanso ye Kyazanga abakedde okwekalakaasa ne bayiwa kasasiro acuuma ekivundu ku kitebe ky’eggombolola ekivudddeko emirimu okusannyalala ku kitebe kino.
Bano kasasiro bamutimbye ne ku miryango gya geeti eyingira mu kifo kino nga bano babadde bazaako okumutwala mu ofiisi zabakulu okuli eya town clerk Kyomuhendo Ronna Mariam n’omuwanika Kusiima Caro olwo betoloole ekibuga nga bakutte ekipandenga balaga obutali bumativu bwabwe, wabula poliisi n’erinnya eggere munteekateeka zaabwe.
Abakozi bano balabiddwako nga balemesa ekimmotoka ekireeteddwa poliisi ye kyazanga kiyoolewo kasasiro gwebatuumye ku geeti eno era kate ebifuba bibabugume n’abo abadde bazze omutikka ku kimmotoka kino nga bagamba nti sibakukiriza kasasiro kuvaawo okutuusa nga basasuddwa ensimbi zabwe ekiwaliriza sipiika wa kyazanga Najjita kuluthum okugezaako okubawooyawooya nga bataamye okukira ennumba
Kati giweze emyezi mwenda nga tebasasulwa nsako yaabwe nga kanso yayisa abakozi mukaaga abalongoosa ekibuga kino okufuna emitwalo 80 buli mwezi nga kati babaanja obukadde 7 n’emitwalo 20.
Maneja akulira abakozi bano Hakim Mwebaze agambye nti bane babadde bamusuza kutebuukye nga balowooza nti yezibika ensako yabwe naye kwekubakulemberamu beekalakaase kuba ebizibu byebalina naye byayitamu.
Bagambye nti bayisibwa nga kasasiro tebafiibwako nga mukiseera kino abaana babwe baabagoba dda kumasomero ne mu mayumba gebasulamu kwossa n’enjala egenda okubatondola olw’obutaba nakyakulya.
Bano baweze nkolokooto nti yadde poliisi eremesezza enteekateeka zabwe sibakupowa okutuusa nga bafunye obwenkanya.
Mmeeya wa Kyazanga Tawuni Kanso Nanyanzi Maada BBagambye nti siwakukola kuba talina wagenda kuyita n’okugumira ekivundu era nasaba tawuni clerk Ronna Mariam Kyomuhendo ne mune Kusiima Caro yonna gyebekukumye baveeyo bagonjoole ensonga y’abakozi bano abasobeddw ewaka nemukibira.
Ate sipiika wa kyazanga tawuni kanso Najjita Kuluthum ( VEIL) agambye nti baludde nga bateesa ku kiteeso ky’abakozi bano abatasasulwa ,nalajjanira gavumenti ensimbi zino ezisoloozebwa kanso wakiri zituukirenga butereevu ku disitulikiti okusinga okusigala mu mikono gyakanso gyagambye nti tekoze mu bwerufu.
Ye ssentebe wa disitulikiti Ibrahim Kitatta( JACKET) asambaze ebyogerwa nti disitulikiti erabika yeremedde ensako yabakozi bano nti sikituufu luba ensimbi zisolozebwa nezitwalibwa butereevu e Kampala ng’eno gyezirwa nekizingamya emirimu mu disitulikiti.
Kitatta akinenyerezza ababaka ba paramenti mukifo ky’okuteesa ku bintu ebigasa omuntu wawansi bo bateeseza mbuto zabwe kuba abakozi bano tebandituuse ku kwekalakaasa singa ababaka bavaayo nebakiyisa nti disitulikiti esigazenga ensimbi za kanso zebasolooza.