Bannakibiina kya NRM abeegwanyiza ebifo by'obukulembeze ebyenjawulo batandise okuzzaayo empalula saako n'okusunsulwa ku bifo bye beegwanyiza.
Mu bazzizzaayo empapula olunaku olwaleero mulimu Ibrajim Kitatta Almalik ng'ono yeegwanyiza kifo kya mubaka wa Bukoto West mu constituency ya Lwengo district.
Kitatta mu kwogwera n'abaamawulire ategeezezza nga bw'agenda okutuusa obuweereza ku bantu ng'anogera eddagala eri ebizibu by'abantu.
Tanga Odoi, akulira akakiiko ke'byokulonda mu NRM ng'akakasa Kitatta
Ono agamba nti abantu b'eno bakyalina okusomoozebwa kw'amazzi amayonjo ,enguudo , eddagala saako n'ebirala eranga waakukwasiza wamu ne gavumenti okubigonjoola .
Mu balala abazze mulimu; Sandra Egesa ng'ono naye asunsuddwa era n'akakasibwa ku ky'omubaka omukyala owa Namayingo District .
Egesa agamba nti disitulikiti y'e Namayingo agiwangaaliddemu emyaka n'ebisiibo so nga gy'azaalibwa, n'agamba nti amanyi bulungi ebizibu byabwe ebibasuza nga batunula.
Egesa ku kkono ng'alaga ebiwandiiko ebimukakasa
Ono akakasizza nga bw'ali omwetegefu okuyamba abakyala okulaba nga beggya mu bwavu wamu n'okufuna empeereza za gavumenti.
Abandi abasunsuddwa mwe muli ne Anthony Amanya ng'ono yeegwanyiza kifo kya mubaka wa Rwampara.
Amanya olwamaze okukakasibwa n'ategeeza nga bw'amanyi ebizibu by'abalonzi n'agamba nti mwetegefu okubikolako.
Amanya ng'ayogera n'abaamawulire