Pulezidenti Museveni alabudde amasomero ga gavumenti agaggya ssente ku bazadde

Kino kiddiridde ssentebe wa disitulikiti Ibrahim Kitatta okumulopera ng’abakulu b’amasomero gano bwe bassuuse okuggyangako abazadde ensimbi ekivuddeko n’ebyenjigiriza okusereba mu Lwengo.

Pulezidenti Museveni alabudde amasomero ga gavumenti agaggya ssente ku bazadde
By Florence Tumupende
Journalists @New Vision
#Pulezidenti Museveni #Lwengo #Busiraamu #Ssomero #Ddwaaliro #Masomero

OMUKULEMBEZE w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asinzidde Lwengo mu kutema evvuunike ly’okuzimba eddwaliro n’ekitebe ky’Obusiramu n’alabula abakulira amasomero ga gavumenti okukomya okuggyangako abazadde ssente.

Ategeezezza nti anaakwatibwa kaakumujjuutuka. Kino kiddiridde ssentebe wa disitulikiti Ibrahim Kitatta okumulopera ng’abakulu b’amasomero gano bwe bassuuse okuggyangako abazadde ensimbi ekivuddeko n’ebyenjigiriza okusereba mu Lwengo.

Pulezidenti Ng'ali N'abayizi.

Pulezidenti Ng'ali N'abayizi.

Mu ngeri y’emu, asabye Bannalwengo n’eggwanga okutwaliza awamu okulima emmwaanyi naddala ezaffe ez’awano n’ategeeza nti olwo lwe bajja okweggya mu bwavu.

Pulezidenti Museveni era alabudde Bannalwengo okuyiga okwekolera bave mu bwa ssemugayaavu n’ategeeza nti baakukikola nga bettanira enkola za Gavumenti omuli emyooga ne Parish Development model efa ku ssente z’emiruka, basobole okweggya mu bwavu.

Museveni Ng'amaze Okutema Evvuunike. Ku Ddyo Ye Bamulangaki.

Museveni Ng'amaze Okutema Evvuunike. Ku Ddyo Ye Bamulangaki.

Ate omubaka Cissy Namujju Dionizia ne Muyanja Ssentaayi basiimye omukulembeze w’eggwanga enkulaakulana gy’akoze mu Lwengo wabula ne bamulaajanira abakolere oluguudo olugenda we baziika abazira olwabasuubizibwa Gen. Katumba Wamala.

Ye mufuti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramadan Mubajje ne disitulikiti Khadi Sheikh Ismeal Kibuule basiimye pulezidenti museveni abazimbidde eddwaaliro eritasosola mu ddiini yadde obuwangwa kw’ossa n’okutumbula ebyenjigiriza mu ggwanga.

Museveni era awadde Bannalwengo amagezi g’okuzaala abaana ab’ekigero baleme okuzaalira gavumenti. Bw’atyo abawadde ettoffaali lya bukadde 200 zibayambeko mu kuzimba era obukadde obusoba mu 300 bwe busondeddwa.