Enjuki zirumbye omukolo gwa NRM ogwatuumiddwa Buganda For Museveni ogwategekeddwa mu kisaawe ky’essomero lya Seed Secondary mu disitulikiti y’e Lwengo.
Abagenyi abakulu okwabadde baminisita n’ababaka ba Palamenti olwabadde okukkalira enjuki ne zizingako weema mwe baabadde eyabadde okumpi ne bannamawulire we baabadde bakwatira ebifaananyi.
Zeetuumye ku kkamera emu eya munnamawulire w’omukutu gwa UBC ekyaleeseewo oluvuuvuumo mu bantu.
Abagenyi abaabadde baliraanye kkamera beeseebuludde mpola obutebe ne baleka nga bukalu ku bunkenke obwatutte eddakiika nga 40 olwo embeera n’edda mu nteeko omukolo ne gugenda mu maaso.
Abakulembeze b’e Lwengo okwabadde omubaka omukazi owa disitulikiti Cissy Namujju Dionizia, Isaac Ssejjoba ( Bukoto Midwest) , Omubaka Muhamad Ssentayi ne ssentebe wa disitulikiti Ibrahim Kitatta baasinzidde ku mukolo guno ne balajjanira gavumenti eveeyo ku nsonga y’amasannyalaze agavaako mu bitundu by’e Ndagwe kati omwaka mulamba. Baagasseeko ekibba ttaka ekisusse ekivuddeko n’obulamu bw’abantu okusaanawo ne basaba n’eddagala mu malwaliro okulyongerako.
Baasuubizza nga obululu bwa Pulezidenti Museveni bwe bugenda okweyongera mu Lwengo kuba ekyavaako okukendeera gwe muyaga ogwakunta abantu ne badduka nga balowooza nti gulimu amaanyi.
Baaloopedde ne minisita Harunah Kyeyune Kasolo nga ensimbi za PDM abantu abamu bwe batannazignyulwamu nga kivudde ku miruka n’amagom-bolola ebisusse obunene ne basaba gavumenti esalemu amagombolola okuli; Kyazanga, Ndagwe ne Lwengo Rural.
Minisita w’amasann-yalaze n’obugagga obw’omutaka Ruth Nankabirwa yabagumizza nti mu wiiki bbiri Gavumenti egenda kuleeta tulansifooma ezimaze ebbanga nga zaafa era abantu baayo bakudamu okwaka. Ate minisita Kasolo yasabye ba RDC okulondoola ssente z’Emyooga ne PDM kuba abazikozesa obubi be baleese obuzibu. Oluvannyuma abayimbi; Stabua Natooro, Harunah Mubiru, Eddy Kenzo n’abalala baabakubye emiziki.